Bya Shafik Miiro
Bulange – Mmengo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga atabukidde abavubuka abayitirizza egayaalo nebalemwa okukola ebiyinza okuzimba obulamu bwabwe.
Mukuumaddamula okucoomera abavubuka bano abadde mu Lubiri e Mmengo ku Lwomukaaga ku ntikko y’ ebijaguzo by’ olunaku lw’ Abavubuka wansi w’ omulamwa, ‘Okutumbula Obukugu Obuyiiya n’Ebitone ku lw’enkulaakulana y’Abavubuka’
“Abavubuka bangi balina ebitone naye babituddeko, bangi basobola okuyimba, okuzina amazina, okusamba omupiira okukuba ebivuga naye nga bali awo batunula butunuzi, tetwagala muvubuka ow’omulembe Omutebi kuwoza nti Gavumenti jangu otuyambe” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza.
Owek. Mayiga ayongeddeko nti Abaganda bagamba nti baseesa gwaka n’olwekyo abavubuka balina kusooka kwesitula balyoke balinde ababakwatirako.
Ono annyonnyodde nti ebiseera eby’obuvubuka bisalawo kinene mu bulamu bw’omuntu kyokka nti omuvubuka anaawangula ensi eno ateekwa okubaako ekintu kyakugukamu nga kikola ku mutindo omulungi okusobola okukifunamu.
Wano w’asabidde abavubuka okubeera abayiiya nga bazuula ebiriko obwetaavu mu bitundu byabwe bazibe eddibu eryo, era bazuule n’ebitone baleme kubituulira ng’agamba nti ekitone ekitavumbuddwa kiba nga zaabu atazuuliddwa.
Kamalabyonna wa Buganda yebazizza Minisita w’Abavubuka, Owek. Robert Serwanga ne bonna abateeseteese omukolo olw’ebirungo eby’enjawulo ebibadde mukolo guno gw’agambye nti guggyayo ekiruubirirwa kya Ssaabasajja okuwa abavubuka omulembe gwe.
Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone Owek. Robert Serwanga ategeezeza nti obuwanguzi mu nsi bugoberera ensonga bbiri, omuntu okumanya ky’ayagala okukola n’okulaba bw’akifuna okusinga okutunuulira ebimulemesa.
Akubirizza Abavubuka okugasa ensi nga batandikira mu bitundu gye bava, okuyambanga ku bantu be babeera nabo ate nabo okwetowazanga nga beebuza ku bantu abalala.
Minisita Serwanga akalaatidde abavubuka abaliko bye bakola okubeera abanyiikivu basobole okubeera abawanguzi. Yebazizza bonna abeetabye mu kujaguza olunaku luno era ayanjulidde Katikkiro abavubuka abasukkulumye ku bannaabwe mu bintu ebyenjawulo ebitegekeddwa mu kujaguza olunaku luno.
Ye ssentebe w’Abavubuka mu Buganda, Omw. Baker Ssejjengo ayanjulidde Katikkiro ebintu eby’enjawulo ebikoleddwa abavubuka mu mwaka guno era amwebazizza olw’okukwata omumuli ogw’okukubiriza abantu okulima emmwanyi z’agambye nti n’abavubuka bazijjumbidde ddala.
Ssentebe w’enteekateeka z’olunaku luno Omw. Nsubuga Najib aloopedde Katikkiro ebikujjuko eby’enjawulo ebibaddewo mu kukuza olunaku luno era yebazizza nnyo buli awagidde enteekateeka ez’enjawulo mu kukuza olunaku luno.
Abavubuka benyigidde mu bintu eby’enjawulo okuggyayo omulamwa gw’olunaku luno omuli; Abavubuka okwolesa emirimu egy’enjawulo gye bakola, Empaka z’eggaali z’Amasaza ga Buganda, Ekigwo ekiganda, okuyimba, okukubaganya ebirowoozo ku mulamwa, okubaka n’okusamba omupiira mu Bannankobazambogo ne mu masaza.
Buweekula y’ewangudde mu mupiira ogw’ebigere mu balenzi, Bulemeezi mu kubaka ate Nkumba University ewangudde mu mupiira ogw’ebigere mu Nkobazambogo ate Buganda Royal Institute n’ewangula mu kubaka.