
Musasi Waffe
Katikkiro Charles Peter Mayiga avumiridde ebikolwa ebyobukambwe ebikolebwa ku bayizi mu matendekero aga waggulu.
“Amatendekero aga waggulu tegakyalimu kuwuliziganya, na kukkaanya, buli nsonga eggwera mu miggo na masasi,Mayiga bweyagambye”
Katikkiro okwogera bino yabadde ayogerako eri banna Buddu abakiise embuga mu nkola ya Luwalo Lwaffe ku Bulange. Kamalabyonna yategeezezza nti waliwo okusereba mu byenjigiriza mu ggwanga nga kino kireeteddwawo ebikolwa eby’obukambwe ebiri mu matendekero aga waggulu abazadde gyebaagala abaana baabwe bagende. Ebigambo bya Katikkiro webigyidde, nga ziweze sabbiiti bbiri kati bukyanga abayizi be Makerere beekalakaasa nga bawakanya okwongeza ebisale okutuuka kubitundu 15 buli mwaka. Abeby’okwerinda baalumba abayizi mu bisulo byabwe ekiro n’ebabakuba emiggo mizibu awamu n’okubononera ebintu byabwe. Katikkiro yagambye nti ebikolwa omuli okukuba abaamawulire, okutulugunya abooludda oluvuganya gavumenti, byonna biraga ekifaananyi ekibi eri emiti emito.“Tuzimba ggwanga lya ngeri ki nga emiti emito giyisibwa mu bukambwe obwenkanidde awo.”Asinzidde wano naasaba abazadde okutwala obuvunaanyizibwa okusomesa abaana basobole okussa ettoffaali ku Buganda n’okuzzaawo ekkula ery’ensi Uganda.Agambye nti buli muzadde alina okukimanya nti okuweerera omwana buvunaanyizibwabwe.
Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu, Joseph Kawuki yeebazizza abaami ba Kabaka olw’okuyingiza abaana abato mu mirimu gy’Obwakabaka nga bakiika embuga.
Ku mukolo gwegumu, Katikkiro yaguze emigabo gya mitwalo abiri (200,000) mu Essuubiryo Zambogo Sacco, wano weyasinzidde naakubiriza abantu ba Buganda okwemanyiiza enkola ya Ffissa, Tereka, Siga okusobola okwekulaakulanya.
Mu Luwalo luno, amasomero ag’enjawulo geetabyemu okuli; MUMSA High School Mityana eyaleese obukadde bubiri, ne Nkobazambogo ye ssomero lino 50,000, Buddu Mutuba I Buwunga – 690,000
Mut lll Mukungwe 6,500,000
Mut XVI Lwankoni – 680,0000, Mut XXBukakkata 1,310,000
Mut VI Katwe 4,680,000
Ssaabaddu Kaliisizo 1,235,000
Ssaabagabo Kyannamukaaka 4,000,000
Omugatte ogwawamu, 21,830,000.