
Bya Ssemakula John
Najjanankumbi – Kyaddondo
Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abantu okwekebeza endwadde buli kadde awatali kulinda bulwadde kubakwata basobole okumanya obulamu babwe webuyimiridde bwebaba baagala okulaakulana.
Obubaka buno Katikkiro abuweeredde ku kkanisa y’Abadiventi e Najjanankumbi ku Mmande, bw’abadde atongoza olusiisira lw’ebyobulamu olutegekeddwa ng’ebimu ku bikujjuko ebikulembeddemu emikolo gyokujaguza emyaka 75 ekkanisa eno gyeyakamala mu kifo kino.
Owek. Mayiga agamba kirungi omuntu okumanya ebifa ku bulamu bwe buli kadde kubanga kiyamba omuntu okumanya engeri gy’alina okubutambuzaamu okusinga okulinda okulwala. Mu ngeri yeemu, Owomumbuga asabye abantu okwewala endwadde ezeewalika nga mukenenya, okulya ekisaanidde n’okukola dduyiro basobole okukuuma obulamu.
Mukuumaddamula asindidde wano neyeebazizza ekkanisa eno olw’okufaayo ku byobulamu by’abantu era naabategeeza nti wadde bannaddiini balyowa myoyo, Katonda omyoyo yagussa mu mubiri era kikulu nnyo okukuuma omubiri nga mulamu bulungi.
Bwabadde ayogera ku lw’ekkanisa eno, Omulabirizi w’Obulabirizi bw’Abadiventi mu Uganda, Omusumba Samuel Kajoba ategeezezza nti benyumiriza nnyo mu Bwakabaka bwa Buganda olw’okubaagala wamu n’Ekkanisa y’Abadiventi yonna mu Uganda.
Omulabirizi Kajoba ateegeezezza nti mu Bwakabaka bwa Buganda mulimu ekkanisa z’Abadiventi ezisukka mu 900 ate ng’ezisinga ziri ku liizi za Bwakabaka nga mu zino mwemuli n’ekkanisa ye Najjanankumbi nakkaatiriza nti kano keekamu ku bubonero obwenkukunala nti Obwakabaka bwagadde nnyo Abadiventi
Omusumba Kajoba akinogaanyizza nti ekkanisa ye Najjanankumbi yeemu ku kkanisa ezisinze okukola omulimu omunene mu bantu ba Buganda okuyita mu bintu eby’enjawulo naddala ebyenfuna n’ebyobulamu okufaananira ddala n’Obwakabaka .

Okusinzira ku musumba Kajoba, wadde omulimu gw’ekkanisa omukulu gwa kuteekateeka bantu kuyingira ggulu, erina n’okubayamba okuyitimuka mu bintu ebyenjawulo.
Wano wasinzide nasuubiza okunyweza enkolagana n’omukwano wakati w’ekkanisa n’Obwakabaka okwongera okutuukiriza omulamwa guno, naayongera n’okweyanza Omutanda olw’okusembeza Abadiventi n’ensikiriza endala okwetoloola eggwanga.
Omusumba Kajoba ategeezezza nti ekkanisa ye Najjanankumbi ky’ekimu ku bifo ebisinze okuteekateeka abaweereza mu kkanisa y’Abadiventi nga naye yennyini mwomutwalidde.









