Katikkiro yeetabye mu kusaba kw’okujaguza emyaka 90 egya Muzeeyi Ssemanda Oswald ku Our Lady Queen of Virgins Kisubi Catholic Parish.
Kamalabyonna yategeezezza nti emu ku nsonga lwaki yeetabye mu kujaguza kuno, kwe kusiima muzeeyi Oswald Ssemanda olw’omwoyo gwa Buganda ogutafa gweyayolesa nga yeetaba mu nteekateeka y’okusonda ettoffaali mu kitundu kye Kabulamuliro wadde nga yali mukadde. Wano wasinzidde naamutonera ekitabo kyeyawandiise ekye “ETTOFFAALI”.
Omukolo guno gwakulembeddwa Mmisa eyakuliddwa Rev. Fr. Pius Male, Chancellor wessaza lye Kampala nga ye yasomye n’obubaka bwa Ssaabasumba.
Mu bubaka bwe Ssaabasumba yeebazizza Muzeeyi Ssemanda olw’obuweereza eri Ekelezia bweyawaayo ettaka bazimbeko Ekelezia e Kabulamuliro.
Omukolo guno gwetabiddwako Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Okwewummuza Henry Kiberu Sekabembe, Ssentebe wa disitulikiti ye Wakiso Matia Lwanga Bwanika n’abakulembeze okuva mu Kika ky’Ennyonyi Nakinsige n’abalala.