
Katikkiro Charles Peter Mayiga akuutidde abaami ab’amasaza abagya, okubeera abeerufu nga batuukiriza obuvunanyizibwa bwabwe obwabakwasiddwa. “Nze sikola na muntu akukuta oba omuntu apalappalanya ebintu bya Kabaka. Tukolere mubwerufu, ebintu byonna ku mmeeza,” Mayiga bweyategeezezza. Okwogera bino, Ow’omumbuga yabadde asisinkanye abaami abaggya ab’amasaza ku mbuga enkulu e Bulange Mmengo. Yabasabye okwagala abantu ba Kabaka babakwasizza okusobola okwanguyirwa emirimu. “Abantu mubalambule, bwebaba n’ebizibu mubagumye lwebajja okumanya nti oli mwami wa Kabaka,” Mayiga bweyategeezezza. Kyokka Katikkiro yalabudde abaami, obutasosola bantu olw’ebibiina by’ebyobufuzi byebawagira nagamba nti Obwakabaka bwaniriza buli muntu. “Tojja kufuula bantu ekyo kyebatali…ffe bulyomu tumwaniriza kasita abanga assa mu Kabaka ekitiibwa. Ggwe ng’omwami toteekeddwa kubaako ludda lwowagira, ebyobufuzi tubirekere bannabyafuzi, ffe tukumeekume abantu ba Kabaka mumabala gaabwe ag’enjawulo,” Mayiga bweyagambye.
Kuntandikwa y’omwezi guno, Ssabasajja Kabaka yasiima n’akola enkyukakyuka mu baami b’amasaza mweyalondedde abagya wamu n’okuwummuza abamu kubabaddeko. Katikkiro yabayozaayozezza n’agamba nti Kabaka okukulengera mu bantu ba Buganda abasukka mu bukadde 13, guba mukisa gwamaanyi. “Nebaza abaami abawumudde, muli bantu bakulu era musobola okulaba enjawulo eri mu Buganda, teyeekoze yokka…kubanga abaami bakoze omulimu gwamaanyi. Okwolesebwa kwaffe kwakuzza Buganda kuntikko… Olugendo olututuusa kuntikko z’ensonga za Buganda ettano; okukuuma n’okunyweza Namulondo kubanga Kabaka ky’ekitikkiro kyaffe, okulwanirira enfuga ya Federo, okukuuma ettaka n’ensalo za Buganda, okukola obutaweera, n’okubeera obumu.”