Bya Shafik Miiro
Bulange – Mmengo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asisinkanye abakulira eddwaliro ly’e Mengo nebateesa ku ngeri ez’enjawulo zebasobola okuganyulamu abantu ba Nnyinimu ku by’obujjanjabi era naalabula ku basawo abafere .
Okulabula kuno, Owek. Mayiga akukoledde mu Bulange e Mmengo ewabadde ensisinkano eno ku Lwokutaano.
“Ennaku zino tulaba era tuwulira abantu bangi nti buli omu alina eddagala erya buli kimu, ery’ensigo, kibumba, maanyi ga kisajja ebitaaliwo edda, bano bagaba ebintu nti ebiwonya endwadde eza buli ngeri ne biseera eby’ekirwadde ki lumiimamawuggwe abantu bangi babalagirira ebintu bingi mbu bejjanjabe” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza.
Kamalabyonna Mayiga asinzidde wano nategeeza nti obusawo mulimu gwakikugu era obujjanjabi bwetaaga bukugu obw’abantu abaatendekebwa mu busawo nga bayisiddwa mu mitendera egy’enjawulo kubanga omulimu gwabwe gukwata ku bulamu, wabula ssi bya kugezesa ng’akwata akalulu.
Owek. Mayiga annyonnyodde nti obulamu kya muwendo omuntu ky’alina okusasulira okukuuma.
Ono alaze obwennyamivu nti abantu bateeka ssente mu bintu ng’omwenge ate ne batafaayo ku bulamu bwabwe naakubiriza abantu okuwangayo obudde okwekebaza okumanya obulamu bwabwe bwe buyimiridde wadde nga bawulira balamu.
Bwatyo, Owomumbuga yeebazizza ab’eddwaaliro olw’enkolagana ennungi gye balina n’Obwakabaka naddala mu kutuusa obujjanjabi eri abantu ba Beene, okwenyigira mu nteekateeka z’okukuŋŋaanya omusaayi, ensiisira z’ebyobulamu n’enteekateeka endala.
Minisita w’Ebyobulamu mu Buganda Owek. Choltilda Nakate Kikomeko yeebazizza ab’eddwaaliro lino olw’okwetaba mu nteekateeka z’Obwakabaka ez’enjawulo ez’ebyobulamu ate n’okuwa sikaala eri abaana abasoma obusawo buli mwaka nga bayita mu Bwakabaka.
Akulira eddwaliro lino, Dr. Simon Peter Nsingo ategeezeza nti enkolagana eddwaaliro gye lirina n’Obwakabaka ebakoze bulungi nnyo mu kutuusa empeereza z’Obujjanjabi ez’enjawulo ku bantu, naddala mu kukuŋŋanya omusaayi nti Buganda ewagidde nnyo etterekero ly’omusaayi ery’eddwaaliro lino.
Ono era ategeezeza nti mu kwongera okunyweza enkolagana n’Obwakabaka ku bboodi ekulira eddwaaliro eddako, bayita ekiteeso nti egenda kuba etulaako omukiise okuva mu Bwakabaka okusobola okutuusa ensonga obulungi mu njuyi zombi.
Okusinziira ku Dr. Nsingo waliwo enteekateeka ery’okuteekawo ebizimbe ebipya ku ddwaaliro n’okwongeramu ebyuma eby’omutindo era asabye Obwakabaka okubakwatizaako okuggusa eddimu lino.