Musasi waffe
Charles Peter Mayiga, Katikkiro wa Buganda olwaleero asisinkanyeemu abakozi b’ebitongole by’Obwakabaka abaakira ku balala mu kuweereza obulungi mu mwaka 2019.
Ng’ayogerako gyebali, Oweek. Mayiga abasabye okugenda mumaaso ngabakola ebyo ebyabawanguza.
“Saagala muwangule mulundi gumu; musaana okuddingana ebyo ebiba bibawanguzza kubanga oluwangula omulundi ogumu emirundi egisinga luyitibwa lukisakisa,” Mayiga bwagambye.
Ayongeddeko nti omuntu okuwangula wabaawo ebintu byakola abantu kwebasinziira okugamba nti yakize ku balala.
Agambye nti buli muntu ayagala nnyo okuliraana abantu abalina obusobozi.
“Njagala nnyo abantu abalina ebirungo ebirungi era kyetaagisa okubasisinkana wamu n’okubeebaza n’okubongera mu amanyi,” Mayiga bwagambye.
Mu birala, Katikkiro era avumiridde nnyo abo bonna abaagala okutumbula ennimi engwira ng’ate bafeebya ennansi.
“Ensi zino zandikuze nnyo singa bateeka essira ku nnimi zaffe ennansi. Okuyiga ennimi nkyegomba nnyo naye osookera ku lulwo. Sikyamagezi n’akamu okuyigiriza abantu Oluchina. Kiki ekinjigiriza Oluchina. Emirundi gyengenze e China sibulangako kubanga simanyi Luchina,” Mayiga bwagambye.
Gavumenti ng’eyitira mu kitongole ekiteekateeka eby’ensoma gyebuvuddeko yayisa enteekateeka empya, giyite curriculum egenda okugobererwa mu masomero ga ssekendule.
Mu nteekateeka eno, abayizi baakuyigirizibwa Oluchina ng’olumu ku nnimi empya ezaagatiddwa ku bisomebwa.
Bagamba nti China ekuze nnyo ng’ate Uganda esuubulayo nnyo nga n’olwekyo kyetaagisa Bannayuganda okuyiga Oluchina.