
Bya Ronald Mukasa
Mmengo – Kyaddondo
Katikkiro Charles Peter Mayiga asisinkanye abakulira ECO Bank mu ggwanga okwongera okubangawo enkolagana wakati wabwe n’Obwakabaka .
Kamalabyonna Mayiga asinzidde mu nsisinkano eno eyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu naasaba bantu okwesiga bbanka bwebaba baagala okutambuza obulungi emirimu gyabwe wamu n’okukulaakulana.
Owek. Mayiga agamba nti kikyamu abantu okulowooza nti bbanka z’abantu bannagwadda nakinogaanya nti buli ssekinoomu mu mulimu gwakola yeetaaga obuweereza bwa bbanka okusobola okutwala emirimu gye ku ddaala eriddako.
Ono annyonnyodde nti bbanka zzo zirina obukwakkulizo obusoboka okwawukanako n’abantu abamu oba ebibiina oluusi ebitandikawo n’ebigendererwa ebirala, nga bano ebiseera ebisinga bwe bawola ssente, ate bawanika amagoba nekigendererwa ky’okutwalako abantu ebyabwe.
Katikkiro asuubiza nti ensisinkano n’abakulu bano yaakuyamba nnyo abantu abakola emirimu egitali gimu mu Bwakabaka omuli abasuubuzi, abalimi n’abalala abakola emirimu, kubanga basobola okutereka, ate n’okwewola ku mbeera esobozesa abantu okwekulaakulanya.

Akulira emirimu egy’ekikugu n’okusiga ensimbi mu ECO BANK, Hellen Luyima ategeezezza nti balina essuubi mu nkolagana yaabwe n’Obwakabaka era bakkiriza nti ejja kuvaamu ebibala bingi era nga ejja kuganyula abantu ba Buganda n’Eggwanga lyonna.









