• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Eby'obuwangwa

Katikkiro asiimye ab’Emmamba olw’okugonjoola obutakkanya mu kika

Gambuuze by Gambuuze
March 13, 2020
in Eby'obuwangwa
0 0
0
Katikkiro asiimye ab’Emmamba olw’okugonjoola obutakkanya mu kika
0
SHARES
24
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Katikkiro w’ekika ky’Emmamba Mulindwa Ziikwa wakati n’abataka abalala ku Bulange

Musasi waffe

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asiimye nnyo ab’Emmamba olw’okugonjoola obutakkanya mu kika kyabwe obubadde bwagala okukiyuzaamu.

Oweek. Mayiga abadde asisinkanyemu Mubiru Ziikwa, ng’ono y’omutaka Gabunga akulira ekika ky’Emmamba wamu n’olukiikolwe olufuzi ku Bulange e Mmengo olwaleero.

Omuaka Gabunga Mubiru Ziikwa

“Twawulira ebintu mu kika ky’Emmamba nga biringa ebikiyuuya era bwennafuna ebbaluwa y’Omutaka n’ensanyuka okukamala era kwekumusaba nti embeera nga bwetereezeddwa andage ku lukiiko olufuzi n’Obuganda butegeere nti mu Mmamba teriiyo mbojjanyi,” Oweek. Mayiga bweyagambye.

Yategeezezza nti abantu bulijjo babeera n’ebisoomooza wabula kyetaagisa okubikwata mu ngeri yampolampola ng’abaana ab’enda emu.

“Wewaabaawo omuntu alina kyayagla okutereeza mu Mmamba, tetwagala ayite b’amawulire ng’enteesaganya zigenda mumaaso kubanga ebyo biba tebikyali by’amunju. Ndowooza nga wabaddewo ensonga, ow’Emmamba yandisoose ku gitwala ku mbuga yakika. Naye buli lwetunaaba n’ebitusoomooza netukkungaanya Obuganda bonna tububuulire ensi tejja kutereera bulungi kuba ebika kwetuyimiridde,” Mayiga bweyagambye.

Yagasseeko nti nga Ssabasajja Kabaka ali mukuteereeza endooliito mu bika, tekisanyusa okuwulire nti ab’Emmamba, ekimu ku bika ebisinga obuguundiivu mu Buganda ate nga kyesunaasuna.

Ku lulwe, Katikkiro w’ekika Mulindwa Kagendwa yalambululidde Katikkiro ensibuko y’obutakkanya mu kika.

Yagambya nti nga 8/2/2020 Omutaka Gabunga yatuuza olukiiko lw’ekika era naawe ebiragiro ekika kwekirina okutambulira nga muno mwalimu n’okulonda olukiiko olufuzi olupya.

Katikkiro wa kati nab’Emmamba mu maaso ga Bulange

“Omutaka George Ssenkaali n’abalala batuuza olukiiko n’ebayisa ekiwandiiko ekiyimiriza olukiiko lwa Gabunga nga tebamuwadde mukisa kutunula mu  nsonga eno. Kino kyaleetawo ensasagge nnene mu mu kika naye njagala okukukakasa nti ekika kiteredde era olukiiko Gabunga alulinamu obwesige okuddukanya ekika,” Kagendwa bweyategeezezza.

Yagaseeko nti ekika ky’Emmamba kitambulira ku nnono n’enkulaakulana era kigezaako okulaba nti Ssaabasajja byabalagira babikola.

“Ekika ky’Emmamba kitebenkedde wewaawo tulina okusoomoozebwa kubanga bulyomu alina endowoozaye mu ntambuza y’ekika. Tukwebaza obuwagizi n’okusoosowaza ekika ky’Emmamba. Tuli mabegawo mu nteekateeka zonna z’oliko okukulaakulanya Obuganda,” bwatyo Kagendwa bweyasiimye Katikkiro Mayiga.

Share this:

  • Twitter
  • Tumblr
  • Pinterest
  • Pocket
  • WhatsApp
  • Skype
  • Telegram
  • LinkedIn
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.