Bya Ssemakula John
Masaka – Buddu
Katikkiro Charles Peter Mayiga, asabye abagagga abalina akakwata ku kibuga Masaka okulabira kw’ abadde nannyini wa Mariaflo, Antanansius Bazzekuketta, eyasalawo okusiga ssente gyazaalwa okusobola okuleetawo enkulaakulana.
Bweyabadde akungubagira Bazekuketta ow’emyaka 79 eyasangiddwa nga afiiridde mu buliri mu bimu ku bisenge bya wooteri ye wiiki ewedde.
Bweyali tanadda Masaka mu 1987, Bazzekuketta yali musuubuzi mu Kampala. Bweyabadde akiikiridde Katikkiro Mayiga mu kuziika omugenzi ku kyalo Bulando ku Lwokutaano, Ppookino Jude Muleke yagambye nti ebintu byonna ebikulaakulanye biyambiddwako abantu bakwo bennyini Katonda beyasitula mu byenfuna.
“Mzee Antanansi yalaga eky’okulabirko bweyakomawo e Masaka nateekawo wooteri kwokomya amaaso. Bannabizineensi bangi abazaalibwa e Masaka nga bawangaalira Kampala basobola okumulabirako nebakulaakulanya ekibuga Masaka,” Ppookino bwe yagambye kulwa Katikkiro Mayiga.
Ono ayogedde ku mugenzi ng’omuntu abadde ayagala buli muntu era omukozi.
Eyakulembeddemu okusabira omugenzi era Vicar General w’essaza lye Masaka, Msgr Dominic Ssengoba yasabye abantu okuzza obuggya enkolagana yabwe ne Katonda nga tebanaba kumusisinkana.
Minisita w’ebyokwerinda, Vincent Ssempijja, yategeezezza nga Mzee Antanansi bw’alese omukululo nasaba abaana be okugukuuma.
Muwala w’omugenzi, Harriet Nabakoza Musoke, yayogedde ku kitaawe ng’omuntu abadde ayagala abantu era Muzzanganda.
Musoke agamba nti kitaabwe yasalawo okwesimira entaana mwarizikibwa okusobola okubaziyiza okusaasaanya ensimbi mu maziika ge.
Yeebazizza Bannamasaka olw’omukwano gwebalina eri kitaabwe era nabasaba enkolagana egende mu maaso ne famire y’omugenzi.
Nannyini Brovad Hotel, Sarah Kiyimba kulwa basuubuzi mu Masaka asabye abaana b’omugenzi okukola buli kisoboka bakuume ekitiibwa kya kitaabwe.