
Bya Francis Ndugwa
Kakeeka – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abaweereza mu bitongole byo Bwakabaka okukola obutemalira bwebaba baakutuukiriza bigendererwa bya Ssaabasajja ebyamutandisaawo ebitongole ebyo.
Owek. Mayiga bino abyogeredde ku ttendekero lya Buganda Royal Institute of Business and Technical Educatione gyabadde agenze okulambula ebikolebwa n’okulaba engeri abayizi gyebasomamu ku Lwokuna.
Kamalabyonna Mayiga ayozaayozezza ettendekero lino olw’okuweza emyaka 25 gye limaze nga lingunjula abaana b’Ensi, era neyeebaza obukulembeze bw’ettendekero.
Ow’omumbuga yatandise nakulambula ebibiina omusomerwa ebyemikono, omuli, olusiba enviiri, eby’amawulire, okufumba, okukanika, n’ebyokwewunda.

Owek. Mayiga alaze okusiima olw’enkulaakulana gye bataddewo kubanga BRIBTE kimu ku bitongole by’Obwakabaka ebyenyumirizibwamu era byebaagala okwongera okukuza.
Ono abakozi abasabye okwongeramu amaanyi okulaba ng’ettendekero lifuna abaana era bagunjulwe, naye okusingira ddala batuukirize ebiruubirirwa Kabaka kweyasinziira okutandika Buganda Royal Institute.
Ssenkulu w’Ettendekero lino, Owek. Joseph Ssenkusu Balikuddembe asanyukidde okulambula kwa Katikkiro eri ettendekero lino naagamba nti kitegeeza kinene gyebali.
Ssenkusu agasseeko nti mu kadde kano balina abanoonyi bobubudamu abasoba mu 200 bebali mukubangula era nga basuubira okwongera okugaziya obuweereza buno.

Mu kulambula kuno, Katikkiro akulembeddemu Ssenkulu w’ettendekero lino, Oweek Joseph Balikuddembe Ssenkusu, Minisita w’ebyenjigiriza n’enkulaakulana y’Abantu, Oweek Choltilda Nakate Kikomeko, Minisita w’Amawulire Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka Oweek Israel Kazibwe Kitooke, Ssenkulu wa BICUL Omuk. Roland Ssebuufu, n’abakozi ku ttendekero lino.