Bungereza
Katikkiro Chares Peter Mayiga agenyiwaddeko ew’Omulangira wa Bungereza Prince Edward Antony Richard Louis ng’ono muto w’omukulembeze wa Bungereza, King Charles III neboogera ku ngeri gyebasobola okutumbulamu enkolagala eyamba abantu b’Omutanda n’ensonga endala ez’enjawulo. Bano essira balisimbye ku ndagaano eyassibwako omukono wakati w’Obwakabaka bwa Buganda n’ekitongole ky’Omulangira ekiyitibwa Duke of Edinburgh International Award ekiruubirira okuyamba abavubuka okuzuula obusobozi bwebalina basobole okweyimirizaawo.

Ensisinkano eno abadde mu maka ga Prince Edward agasangibwa mu Bagshot Part, Surrey, ku njegooyego z’ekibuga London era Katikkiro awerekeddwako Omumyuka we Owokubiri Owek. Robert Waggwa Nsibirwa ne Minisita wa gavumenti ez’ebitundu mu Bwakabaka, Entambula za Kabaka n’ensonga z’ebweru wa Buganda Owek. Joseph Kawuki, Omwami wa Kabaka atwala e Ssaza lye Bungereza ne Ireland, Owek. Godfrey Kibuuka n’abakungu abalala.

Kinajjukirwa nti gyebuvudde Prince Edward yakyalako mu Bwakabaka bwa Buganda era nga bugenyi buno Obwakabaka mwebwattira omukago n’ekitongole kye nga kino kyakolebwa okusobola okwongera amaanyi mu kaweefube w’okukyusa obulamu bw’abantu naddala abavubuka ba Buganda.









