Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga akyaddeko mu maka ga kampuni ya MTK Uganda Limited okubayozaayoza okuweza emyaka 52 nga baweereza bannayuganda.
Katikkiro yeebazizza nnyo omutandisi wa kampuni eno Xavier Kitaka olw’okuweereza obwakabaka wamu n’okwagala Kabaka we. Mu ngeri yeemu yamwebazizza okwagala eddiini ye n’okuweereza Katonda.
Katikkiro era wano akubirizza abakozi okwagala emirimu gyabwe, bagyemalireko kubanga business bweggwawo bebasinga okukosebwa. Era wano Katikkiro yalambudde ebifo abakozi gye bakolera (offices) emirimu awamu ne sitoowa gye batereka eddagala erikolebwa.
MTK bakola eddagala ly’abantu n’ebisolo era nga baludde mu nsiike eno ey’okukola eddagala.