
Musasi Waffe
Katikkiro Charles Peter Mayiga, asabye ababalirizi b’ebitabo okwenyigira mu lutalo lw’okulwanyisa obubbi n’obuli bwenguzi muggwanga. “Obubbi n’obuli bw’enguzi mu gavumenti n’amakampuni gw’obwannayini bweraliikiriza. Mmwe ababaliriza b’ebitabo musobola okuyambako okukomya obubbi buno. Ffe mu Buganda twagunjawo enkola ey’omulembe omugya erimu obuyiiya, obunyiikivu, obwerufu, n’okwagala. Tukkiriza nti okujjako nga tugoberedde enkola ey’omulembe omugya, tetusobola kutuusa Bwakabaka kuntikko mubyenfuna ne mumbeera z’abantu ezaabulijjo,” Mayiga bweyagambye. Okwogera bino yabadde ku mukolo gw’okukwasa engule (awards) ebitongole n’amakampuni ag’enjawulo ezisinze okutumbula ebyenfuna mubantu omwaka oguwedde, ezitegekebwa ekibiina ekitwala ababalirizi b’ebitabo ekya Uganda Certified Public Accountants. Omukolo gwabadde ku Serena Hotel mu kiro ekikeesezza leero. Mayiga era yagambye ng’ogyeko obubbi, ekirala ekisinga okuviirako amakampuni okugwa mu Uganda, kwekulemererwa okuba n’enkola ey’okumanya oba kampuni ekola amagoba oba nedda. “Enkola enakulabula obutawasa mukyala mulala olw’okuba okoze amagoba oba okwewola okuzimba ennyumba ennene; ebiseera ebisinga kino kyetukola,” Mayiga bweyagambye.