Bya Shafik Miiro
Nakwero
Katikkiro Charles Peter Mayiga akedde Nakwero mu maka ga munnabyanfuna Sir Prof. Gordon Wavamunno okumukubagiza olwa mutabani we Jolly Joe Wavamunno Kayima eyafiira mu ggwanga lya Thailand gyebuvuddeko era naamusaasira okufiirwa omwana abadde akyali mu myaka emito ate n’afiira mu ntiisa. Wano weyeebalizza abantu ababeereddewo Pro. Wavamuno mu kaseera kano ak’okusomoozebwa era amukwasizza Katonda ayongere okumugunya. Mu ngeri yeemu, Kamalabyonna asaasidde aboluganda n’emikwano gya Jolly Joe Wavamunno era asabye Katonda amulamuze kisa.

Bwabadde ayogerako eri abakungubazi, Mukuukaddamula ategeezezza nti omugenzi baamumubikira ali bulaaya neyeraliikirira engeri Wavamunno gy’agenda okuyita mu mbeera eno ey’ekikangabwa era yeebazizza Mukama olw’okumugumya. Owomumbuga Mayiga agambye nti omugenzi abadde mwetowaze nnyo ate nga akwata obulungi abantu era buli amumanyi nga amwesiimisa, bwatyo yeebaziza Prof. Wavamunno olw’okuteekateeka n’okugunjula abaana.


Katikkiro asinzidde wano nakubiriza abantu okufaayo ku zzadde lyabwe naddala ku nkuza baleme kuba nga abazaalira ensi. Katikkiro agamba abaana abalina okusigibwamu empisa n’obuntubulamu baleme kukula muwawa era ajulizza enjogera ya “omwana bwotomukaabya mu buto, akukaabya mu bukadde.









