• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Katikkiro Akowoodde Gavumenti okutegeka akalulu ak’emirembe

Gambuuze by Gambuuze
December 15, 2025
in Amawulire
0 0
0
Katikkiro Akowoodde Gavumenti okutegeka akalulu ak’emirembe
0
SHARES
0
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Pauline Nannyonjo

Mmengo – Kyaddondo

Katikkiro Charles Peter Mayiga akoowodde gavumenti ya Uganda okutegeka akalulu ka 2026 ak’emirembe.

Bino abyogeredde ku Bulange e Mmengo mu nsisinkano gy’abaddemu ne banakibiina ki National Unity Platform.

Effujjo erikolebwa poliisi n’amagye mu kiseera ky’okuwenja akalulu naddala ak’obwapulezidenti lisinze kulabika nga likolebwa ku bannakibiina ki National Unity Platform mu bitundu ebyenjawulo ng’abawagizi bwabwe bakugirwa okugoberera abantu baabwe era emirundi mingi balabiddwako nga bakubwa emiggo, omukka ogubalagala w’amu n’amasasi. Embeera eno y’evvuddeko eddoboozi lya Katikkiro ku nsonga eno.

“Kankowoole gavumenti okulaba nga tubeera n’akalulu ak’emirembe; emiggo, omukka ogubalagala, amassasi ebyo tubirekere abalabe abagenda okuzinda Uganda, abo abalabe tubakube nnyo nnyo naye abatuuze tuleme kubakuba bintu ebyo ate tubeera nabo kuba gw’okubye emiggo oyagala alagewa? Nsaba abakwasisa amateeka bakikole mu bwesimbu awatali kyekubiira era ffena tugoberere amateeka’ Katikkiro Mayiga.

Katikkiro Mayiga mu mbeera y’emu abawagizi ba National Unity Platform naddala abavubuka abasabye okwewaayo okuyiga okusingira ddala ku bantu abakulu ababasinga, baleme kumala googera buli kye basanze, abajjukiza olugero; ’emmeeme etafumba bigambo ekwogeza munno kyatalyerabira” bw’atyo abakubirizza okusengejja bye boogera ku mitimbagano bireme kubalondoola mu myaka gya bukulu ate batuuke okwejjusa.

Mu nsisinkano eno akulira ekibiina kya National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu yebazizza Kamalabyonna olwa bulijjo okuyimiriranga n’abo abanyigirizibwa ng’avumirira obumenyi bw’amateeka obubakolebwako mu naddala mu kampeyini zaabwe

“Twagala okwebaza Oweekitiibwa Katikkiro, tukulaba nga ossa eddoboozi lyo mu kuvvumirira okutulugunya, n’obumenyi bw’amateeka obukolebwa mu ggwanga tumanyi nti okikola newankubadde embeera y’abannakyemalira weeri naye webale kubanga mugumu n’okutuzzaamu amaanyi kuba buli lwe tuwulira eddoboozi eriva embuga nga liyimirira wamu n’abantu ba Kabaka n’abantu ba Buganda ne Uganda kituzaamu amaanyi ssebo webale nnyo” Kyagulanyi.

Kyagulanyi asinzidde wano n’avumirira ekiwamba bantu ekikyagenda mu maaso mu ggwanga newankubadde abantu ab’enjawulo bakyogeddeko enfunda eziwera. Ono alaze obwennyamivu nti embeera eno n’okutwaliramu Bannaddiini era anokoddeyo eky’okulabirako Kya Rev. Fr. Deusdedit Ssekabira ow’e Masaka eyabuzibwawo poliisi n’emwegaana ate oluvannyuma amaggye ne gakkiriza nti ge gamulina. Agamba nti ebikolwa bino bisaana okukoma Bannansi beeyagalire mu Nsi yaabwe.

Joel Ssenyonyi, Omwogezi wa NUP naye tayawukanye ku mukama we wadde, yekokkodde ebikolwa bya poliisi n’amagye eby’okukuba abantu baabwe ne babakugira n’okutuuka mu bifo eby’enjawulo gye baba baategese enkungaana zaabwe.

Newankubadde ebikolwa nga bino eby’okukuba abantu emiggo, omukka ogubalagala n’amasasi bivumirirwa entakera, abakuumaddembe bakyalabibwa nga baddamu bye bimu naddala eyo Kyagulanyi gy’aba anonyeza akalulu mu nnaku ez’enjawulo.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.