Bya Maria Gorreth Namisagga
Mmengo – Bulange
Bannakibiina ky’ebyobufuzi ki Conservative Party (CP) bakyaddeko Embuga ne basisinkana Katikkiro mu kisenge kya Kabineti mu Bulange e Mmengo.

Aba CP bakulembeddwamu Pulezidenti w’ekibiina Hon. John Ken Lukyamuzi ono ategeezeza nti bazze okwanjula abakwatidde bendera ku bwa Pulezidenti, Elton Joseph Mabirizi wamu n’okwanjula ensonga ze basimbyeko essira ng’ekibiina.
Lukyamuzi ategeezeza nti essira bbo ng’ekibiina okuviira ddala ku ntandikwa baliteeka ku nfuga eya Federo era ono yebazizza Obwakabaka bwa Buganda olw’okulemera ku nsonga eno gy’agambye nti yejja okuggya Uganda mu bizibu by’erimu.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, mu nsisinkano eno alambuludde ku makulu g’ekigambo Federo, mwategereezza nti federo kitegeeza kugabana buyinza nga buli kitundu kyekolera ku nsonga zaakyo. Ategezeezza nti federo tetemaatema mu bantu nga abamu bwe boogera, n’agamba. Agamba nti Ensi nnyingi nga Belgium, Switzerland n’endala zikulaakulanye lwa kuyimirira ku musingi gwa Federo kale nga ne Uganda bwenagenda mu nkola eno, ejja kukula mangu.
Wano Katikkiro Mayiga w’asinzidde n’ategeeza Bannakibiina kino nti omulamwa gwe baliko ogw’okulwanirira federo bali ku kituufu, era n’asaba akwatidde ekibiina kino bbendera ku bukulembeze bw’eggwanga Elton Mabiriizi, nti bwaba atuusse mu bukulembeze, aleke buli kitundu kyeraamulire ebyakyo.
“Kaakati Lwaki Gavumenti eya wakati yeegulira abakulembeze ab’ennonno emmotoka, lwaki,? Oyagala okugamba nti e Teso yonna nga gy’eyita eyo, teriimu ssente ziyinza kugulira mukulembeze waabwe mmotoka, Lwaki eby’ennono tobireekera abe Lango ne babyekolerako, bbo ne basalawo n’emmotoka gye baagaala okugulira omukulembeze waabwe, ssebo Mwami Elton Mabiriizi bw’onogenda ku bwa Pulezidenti, totuzza mw’ebyo, nti ate owa bakulembeze ab’ennonno mmotoka, ggwe baleke beeramulire ebyabwe basalewo” Katikkiro Mayiga.

Katikkiro Charles Peter Mayiga yebazizza nnyo banna conservative party olwokukiika embuga , kyokka n’abasaba obuteekubagiza olw’okuba batono, agamba nti obutava ku miramwa gyabwe kwe batambulira ky’ekisinga obukulu bweginaabawanguza abantu abalala bajja kubeegattako.
Ye akwatidde ekibiina kino bbendera ku bukulembeze bw’eggwanga Ssaalongo Joseph Elton Mabiriizi, ategeezezza Katikkiro nti ekisinze okubaleeta embuga kwe kufuna emikisa naddala mu kaseera kano nga besimbyeewo, nti era ensonga ya Federo kwe banyweredde ne mu kalulu kano.
“Okuviira ddala lwetwatandika okulabika nga CP mu myaka gye 80, omugenzi Owekitiibwa Mayanja Nkanji nga atukwatidde flag yaffe nga atukulembeddemu, okuviira ddala olwo, bwe tuzze tutambula, tubadde mu kufumba kunene emyaka egimu ne gituyitako awo, nga tetuvuddeyo kugamba nti entebe ennene twesimbewo, newankubadde ng’ebifo ebirala tubadde tukiika, ku mulundi guno Owekitiibwa tunonye emikisa gy’eno, tusobole okubanga tugenda mu ntebe eno ey’obuvunaanyizibwa, n’emikisa egiva e Buganda” Elton Mabiriizi.

Katikkiro mu nsisinkano eno aweerekeddwako Minisita avunanyizibwa ku nsonga za Kabineeti n’abagenyi Owekitiibwa Noah Kiyimba, ate bbo abakulembeze mu CP babaddewo mu bungi.









