Musasi Waffe

Amasomero ag’enjawulo gakiise embuga negaleeta oluwalo ng’emu ku nkola y’okuwagira emirimu gya Ssaabasajja Kabaka. Mu kwogera kwe, Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza abasomesa okutwala obuvunaanyizibwa okubuulirira abaana okwewala ebikolwa ebikyamu omuli, obukuluppya, okulya enguzi, obubbi, n’ebyokweragalaga ebikyase ennyo ensangi zino. Katikkiro agambye nti Buganda ey’enkya yeetaaga abaana abagunjuddwa obulungi mumpisa n’obuntu bulamu. Ow’omumbuga era asabye abaana okwewala okwenyigira munsonga z’omukwano nga bakyasoma nagamba nti kino kyekimu kubisinze okusasanya obulwadde bwa siriimu muggwanga.
Mu masomero agakiise kuliko; St. Janan schools agaweddeyo obukadde 12, Adonia junior school 500,000, Kasengejje secondary School 200,000, Kalambi junior school 50,000, Wakiso Town Primary School 200,000 ne St. Mary’s secondary School Kyebando 100,000. Wonna awamu galeese oluwalo lwa bukadde 13,050,000.
Nga ebyobikyalyawo, Katikkiro era asinzidde ku mukolo guno naakuunga banna Bulemeezi ne banna Busiro wamu n’Obuganda bwonna, okujja mu bungi okuwagira Amasaza gaabwe mu luzannya lw’akamalirizo olw’emipiira gy’amasaza. Emipiira gino gyakubeerawo olunaku lwenkya mukisaawe e Namboole.