Minisita w’amawulire, Olukiiko, Kabineeti, Abagenyi era Omwogezi w’obwakabaka, Owek Noah Kiyimba, atuuzizza mu butongole abaami b’amasaza abaggya okuli Hajji Sulaiman Magala (Katambala-Butambala) ne Mohammed Sserwadda (Muteesa-Mawogola).
Mu bubaka bwe, Owek Kiyimba asabye abakulembeze okukolera awamu okusobola okuggusa obulungi emirimu gya Ssaabasajja Kabaka.