Bya Musasi waffe
Abaami ba Ssaabasajja Kabaka abatwala amasaza ag’enjawulo mu Buganda basabiddwa okufaayo ennyo okulondoola eby’obugagga by’Obwakabaka ebiyinza okuba nga byabulankanyizibwa kisobozese okwongera okuzzaawo ekitiibwa kya Buganda.
Bino byogeddwa minista omubeezi owa gavument ez’ebitundu oweek. Joseph Kawuki ku mukolo ogw’okutuuza omwami wa Ssaabasajja Kabaka atwala essaza ly’e Butambala Hajji Suleiman Magala.
Kawuki agambye nti nga Buganda eruubirira okudda ku ntikko, erina okuzza ebintu byayo ebyabulankanyizibwa n’gettaka wamu n’ebizimbe.
Omukolo gw’okutuuza Katambala gukoleddwa omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Oweek. Patrick Luwaga Mugumbule ku mbuga enkulu eye ssaza e Kabasanda.
Kabaka yasiima n’alonda Magala omwaka oguweddde bweyali akola enkyuukakyuka mu baami be ab’amasaza.
Omukolo guno gwetabiddwako banaddiini ab’enjawulo omwabadde akulira daawa mu Uganda Sheikh Nuhu Muzaata Batte, omulabiriizi wa central Buganda, Bishop Michael Lubowa, abakungu okuva mu gavumenti eyawakati wamu n’e Mmengo.