Bya Francis Ndugwa
Kampala
Kkooti enkulu mu Kampala esibye omusuubuzi w’omu Kampala, Mathew Kanyamunyu, emyaka etaano ku misango gy’okutta Kenneth Akena.

Akena yafiira mu ddwaliro gye yatwalibwa oluvannyuma lw’okukubwa amasasi olw’okukwagula emmotoka ya Kanyamunyu.
Kkooti etudde olwaleero ku Lwokuna, etegeezeddwa nga Kanyamunyu bwe yakwataganye ne woofiisi ya Ssaabawaabi wa gavumenti, n’ateeka omukono ku kiwandiiko ng’akkiriza omusango gw’okutta Akena.
Kanyamunyu bw’abuuziddwa ku kiwandiiko kino, akkiriza nti byonna ebikirimu bituufu era wano omulamuzi asazeewo okumusomera ekibonerezo.
“Watuusa ebisago ku mugenzi naye n’oyanguwa okumutwala mu ddwaliro. Era ogezezzaako okukwatagana ne Famire ye okutabagana nayo ate nga guno gwe mulundi gwo ogusoose okuzza omusango,” Omulamuzi bw’annyonnyodde.
Omulamuzi, Kanyamunyu amusibye emyaka mukaaga wabula n’aggyako omwaka gumu n’omwezi gumu gwe yamala ku alimanda nga tannayimbulwa ku kakalu ka kkooti
Omulamuzi amutegeezezza nti alina olukkusa okujulira singa abeera nga tamatidde na kibonerezo ekimuweereddwa.
Bino we bijjidde nga kkooti y’emu yaakamala okugaana okusaba kwa Kanyamunyu mw’abadde ayagalira kkooti eyimirize okuwulira omusango guno asobole okumaliriza enteekateeka y’okukkiriza omusango guno.
Omulamuzi Stephen Mukiibi ku nsonga eno, yagambye nti wadde mu mateeka kikkirizibwa omuntu okukkiriza omusango, naye ekigendererwa mu kino kwe kuteesa ku kibonerezo ekirina okuweebwa akkirizza omusango.








