• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Kampuni ya Emmwaanyi Terimba akatale ekayingiridde mu maanyi

Gambuuze by Gambuuze
July 19, 2022
in Amawulire
0 0
0
Kampuni ya Emmwaanyi Terimba akatale ekayingiridde mu maanyi
0
SHARES
82
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kampala –  Kyaddondo

Kampuni ya Buganda eyatandikiddwawo okusuubula emmwaanyi ku balimi n’okuzongerako omutindo eya Mwanyi Terimba Ltd, emirimu egitandikidde mu maanyi .

Bano emirimu gy’okugula n’okusuubula emmwaanyi ku balimi bagitandise mu May 2022 nga  webutuukidde olwa leero nga baakagula emmwaanyi eziwera  ttani 200 era abagikulira bagamba nti eno ntandikwa nnungi.

Ssenkulu wa kampuni eno, Omuk. Charles Kironde, agamba nti emmwaanyi zino zikola ebitundu 60-70  ku zibadde zisuubirwa okuva mu balimi abali mu Buganda mu sizoni eno.

Kironde agamba nti kampuni eno esaasaanyiza ssente eziwera akawumbi kamu n’obukadde 500 (1.5 billion) okugula emmwaanyi zino. Era basuubira okugula emmwaanyi endala eziwera ttani 100 Sizoni eno wenagwerako.
Kampuni eno ensimbi kwegulira ziriko waggulu nga Kiro ya Kase bagigula wakati wa 6700 – 7000 eza siringi okusinziira ku mutindo gw’emmwaanyi omuntu zaalina era zino zisobola okweyongera okusinziira ku ntambula ya katale.

Emmwaanyi olutuusibwa ku sitoowa zisooka kukeberwa n’okuzipima olwo nezisunsulwamu okusinziira ku bunene bwazo olwo neziteebwa mu nsawo okusinziira ku bunene bwazo.

Kampuni eno evujjiririrwa butereevu eggwanika lya Buganda era buli mbalirira ebeeramu n’omutemwa okusobola okutambuza emirimu.

Sitoowa za Kampuni eno mu kiseera kino ziri Namanve nga zipangisibwa okuva ku Nucafe nga bwebalinda okuzimba  Sitoowa ezabwe okusobola okutwala enteekateeka eno mu maaso.

Mu kiseera kino kampuni  eno tenatandika kutwala mmwaanyi wabweru nga kati  eziguza kampuni nga Nucafe, Olam ne Kyagalanyi.

Era Kironde annyonnyola nti emmotoka zebeeyambisa okutambuza emmwanyi zino okuva ku balimi abazirina mu bungi nazo zipangisibwa okuva ku Nucafe wadde bategeka okuleeta emmotoka ezabwe.

Kinajjukirwa nti kampuni eno eya Mwanyi Terimba yatandikibwa mu 2021,  okusobola okufunira emmwaanyi akatale nga bazitunda ebweru nga zigattiddwako omutindo.

Ekirowoozo kino kyava ku nteekateeka y’Emmwaanyi Terimba eyatandikibwa Obwakabaka nga ewa abalimi endokwa awamu n’okubawa amagezi ku ngeri entuufu gyebalina okulimamu emmwaanyi wansi w’ekitongole ki BUCADEF nga kitwagana butereevu naba ‘Uganda Coffee Development Authority (UCDA).’

Bweyabadde ayogera ku nteekateeka y’Emmwaanyi Terimba gyebuvuddeko, Katikkiro Mayiga yategeezezza Obuganda nti enteekateeka eno eyambye okwongera ku bungi  bw’ emmwaanyi ezirimibwa mu ggwanga  nga kati ziri ku bitundu 35 ku buli 100.

Kampuni eno esuubirwa okugaziya emirimu gyaayo okusukka amasaza 18 aga Buganda esobole okuganyula n’abalimi abalala abali mu Uganda.

Share this:

  • Twitter
  • Tumblr
  • Pinterest
  • Pocket
  • WhatsApp
  • Skype
  • Telegram
  • LinkedIn
Tags: Buganda KingdomCharles KirondeKatikkiro MayigaMwanyi Terimba LtdUganda Coffee Development Authority (UCDA)
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.