Bya Musasis waffe
Akakiiko akakola ku nsonga z’abannamateeka kayite Law Council, kakakasizza kampuni ya Buganda eya Bannamateeka emanyiddwa nga Buganda Royal Law Chambers okutandika okukakkalabya emirimu.
Okusinziira ku bbaluwa eyawandikiddwa Margret Apiny, ssaabawandiisi wa Law Council, Obwakabaka bwatuukirizza ebisaanyizo byonna ebyetaagisa okutandika kampuni ya bannamateeka.
“Nga nkozesa obuyiinza obumpeebwa Law Council mu kawaayiro nnamba 6(1) akabannamateeka, era oluvannyuma lw’okumatira nti Buganda Royal Law Chambers, ekitongole kya bannamateeka, ekisangibwa e Bulange… kisaanidde okukola amateeka, tukiwadde satifekeeti eno…era yakukola okujjako nga ebaggyiddwako,” ebbaluwa ya Apiny bwesoma.
Nga ayogerako ne Gambuuze, Ssaabawolerereza wa Buganda OweeK. Christopher Bwanika ategeezezza nti oluvanyuma lw’okufuna olukusa luno, kampani ya bannamateeka ya kutandika ng’omwaka guno tegunnaggwako.
“Tuli beetegefu okuweereza abantu ba Ssaabasajja abalina emisango mu makkooti ag’enjewulo. Ekyenjawulo kuffe nti tugenda kuba balambulukufu mu mirimu gyaffe era tusuubira nti abantu tujja kubaweereza bulungi,” Bwanika bweyagambye.
Woofiisi ya bannamateeka eno esangibwa ku mwaliro ogw’okubiri mu Bulange Mmengo.