Bya Ssemakula John
Kampala
Bannakibiina kya National Unity Platform bongezzaayo kampeyini zaabwe, zitandike olunaku lw’enkya ku Lwokubiri wadde nga pulogulaamu y’akakiiko k’ebyokulonda ebadde eraga nti balina kutandika leero mu kibuga Arua.
Omwogezi w’ekibiina kino, Joel Ssennyonyi, ategeezezza bannamawulire olwaleero ku Mmande nti, baluddewo okukakasa pulogulaamu y’okugenda mu Arua naye basazeewo batandike olunaku lw’enkya era ng’olunaku luno baluwaddewo okujjukirirako eyali ddereeva wa Robert Kyagulanyi (Bobi Wine), Yasin Kawuma eyattibwa mu kibuga Arua nga banoonyeza Kassiano Wadri akalulu.
Okusinziira ku pulogulaamu y’akakiiko k’ebyokulonda, leero aba NUP babadde balina kubeera mu disitulikiti y’e Pakwach, Nebbi ne Arua.
Ssennyonyi annyonnyodde nti buli mulundi ekitundu kyamambuka ga Uganda tekifiibwako ng’abantu baakyo bayisibwa ng’abatali bannayuganda. Agambye nti naye NUP eyagadde okubalaga nti wakyaliwo essuubi nga n’ebintu bisobola okukyuka singa babalonda.
Ono asabye akakiiko k’ebyokulonda okufaayo okulaba nga wabeerawo obwenkanya mu beesimbyewo bonna.
Bw’abadde tannasimbula okwolekera Arua, Kyagulanyi agambye nti batandise olugendo era nga lwakukomekkerezebwa nga bayingidde ‘State House’ e Ntebe. Agasseeko nti ensonga lwaki batandikidde mu Arua, kwe kubaako obubaka bwe baweereza abali mu buyinza.
“Nga bwemumanyi emyaka 2 emabega nali nina okufiira mu Arua, baagezaako okuntemula naye ebyembi batta ddereeva wange era mukwano gwange, Yasin Kawuma. Bangi ku mikwano gyange baatulugunyizibwa naye olw’ekisa kya Katonda tukyaliwo.” Kyagulanyi bw’annyonnyodde.
Kyagulanyi agambye nti obubaka bwe batwalira abantu ba West Nile kwe kubalaga nti ly’essuubi eririna okutuukiriza ekirooto kya bannayuganda era nga kampeyini eno bagenda kugikozesa okujjukira Yasin Kawuma.
Okusinziira ku Ssennyonyi, NUP egenda kugoberera ebiragiro bya Ssennyiga Corona nga Kyagulanyi agenda kusisinkana abantu 70 bokka mu buli disitulikiti gy’anaagendamu.
Ssennyonyi agamba nti wadde tebakkiriziganya na biragiro bino, basazeewo okubigondera kiyambe okukuuma emirembe.