• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Kamalabyonna Mayiga atongozza emisinde gy’Amazaalibwa ga Kabaka 2021

Gambuuze by Gambuuze
November 4, 2021
in Amawulire
0 0
0
Kamalabyonna Mayiga atongozza emisinde gy’Amazaalibwa ga Kabaka 2021
0
SHARES
68
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Bulange – Mmengo           

Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga atongozza emisinde gy’Amazaalibwa ga Kabaka egy’omwaka guno 2021 nga gyakubeerawo nga 28 omwezi guno ogwa Novemba.

Omukolo gw’okutongoza emisinde gino guyindidde mu bimuli bya Bulange leero ku Lwokuna nga Kamalabyonna asinzidde wano n’asaba abantu okugyettanira awamu n’okukola dduyiro kiyambe emibiri gyabwe okubeera emiramu.

“Tukuza amazaalibwa ga Kabaka okukkaatiriza obuwangwa bwaffe n’ennono, okukkaatiriza embeera z’abantu, abantu abalamu abasobole okutambula ne Kabaka waabwe ne bazza Buganda ku ntikko. Noolwekyo kya ssanyu nti omwaka guno, oguwedde n’ogujja tukyali ku kulwanyisa Mukenenya.” Katikkiro Mayiga bw’agambye.

Ono ajjukizza abantu ba Buganda nti amazaalibwa ga Kabaka buli lwe gatuuka kuba kwekubamu ttooci mu ngeri Buganda gy’ekuze ng’Obwakabaka naddala mu buwangwa n’ennono ebyekuusa ku mbeera z’abantu.

Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, emisinde gy’omulundi guno gigenda kubeera gya Ssaayansi ng’abasinga bajja kuddukira mu magombolola gaabwe awamu n’ebitundu gye bali. Wabula Omutanda asiimye okubaako abantu abeekigero b’asimbula mu Lubiri lwe olw’e Mmengo mu Kyaddondo.

Minisita w’ebyemizannyo n’okwewummuzaamu mu Bwakabaka, Owek. Henry Ssekabembe Kiberu yeebazizza abantu ba Ssaabasajja kw’ossa bannamikago abakoze obutaweera okulaba nga buli mwaka oguyitawo emisinde gya Kabaka gyeyongera amaanyi, kati emyaka musanvu egyekutte.

Ssentebe w’olukiiko oluteesiteesi era omumyuka wa Katikkiro Asooka, Owek. Twaha Kaawaase Kigongo, ategeezezza nti omulimu gwe n’akakiiko kwe kulaba nti obweyamo obuweereddwa abantu ssekinnoomu ne kkampuni butuukirizibwa era n’awera okutuukiriza ekigendererwa ky’emisinde gino.

Ye akulira kkampuni ya Airtel mu Uganda,  Manoj Murali  nga be bavujjirizi abakulu ab’emisinde gino, ategeezezza nti bagenda kukunga abantu okwetaba mu misinde gino okusobozesa okulwanyisa ekirwadde kya Mukenenya awamu n’okutaasa omwana owoobuwala akoseddwa ennyo omuggalo.

Akulira bbanka ya DFCU, Omuk. Mathias Katamba ategeezezza nti emisinde gino giraga obukulu bw’emikago mu kukulaakulanya ensi awamu n’obuvunaanyizibwa bwa ssekinnoomu mu kutumbula embeera z’abantu n’okulwanyisa endwadde nga Mukenenya awamu n’okulwanirira ekifaananyi ky’omwana omuwala.

Ate ye Ssenkulu w’ekitongole ky’Obwakabaka ekiteeseteese emisinde gino ekya Majestic Brands, Omuk. Ronald Kawadwa yeebazizza bannamikago okuli; Airtel,  DFCU Bank awamu n’ebitongole ebirala olw’okujjumbira empaka zino buli mwaka.

Obujoozi mw’omulundi guno butongozeddwa nga bugenda kugula omutwalo gumu n’ekitundu (15,000) nga bwatandise dda okutundibwa mu maduuka ga Airtel awamu n’ebitongole by’Obwakabaka.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.