
Bya Ronald Mukasa
Bulange – Mmengo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga atongozza olukiiko olunaateekateeka ssabbiiti ya Bulungibwansi n’olunaku lwa Gavumenti ez’Ebitundu mu Bwakabaka era naasaba enkola eno etongozebwe mu ggwanga lyonna okutumbula eby’obulamu n’obuyonjo.
Omukolo guno Kamalabyonna agukoledde mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu ku mukolo kwebamwanjulidde ebikujjuko ebigenda okukulembera olunaku luno olunaakwatirwa e Kyaggwe nga 8, Oct, 2024. Olukiiko luno olutongozeddwa lukulemberwa Owek. Hajati Mariam Nkalubo Mayanja n’amyukibwa Owek. Joseph Kawuki.
“Enkola ya Bulungibwansi esaana etongozebwe mu Uganda yonna okutumbula obuyonjo n’okutaasa obutondebwensi yaffe. Kino kijja kulwanyisa ebikolwa ng’okulundira ebisolo mu kibuga, okuzimba amasundiro g’amafuta okumpi n’abantu, okuzimba amayumba agataaliko nnambika n’ebirala,” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza.
Owek. Mayiga era anokoddeyo ebimu ku bikolebwa ennaku zino ebikyasinze okwoleka okwonoona obutondebwensi okuli; abamala gazimba mayumba mu bitundu nga tegalina pulaani, okuzimba amasundiro g’amafuta okumpi n’abantu, abantu abakunkumula ku kkubo, okulundira ebisolo mu kibuga nakakasa nti byonna bino bivvoola enkola ya Bulungibwansi.
Mukuumaddamula Mayiga wano asabye ekitongole ki Kampala Capital City Authority okuvaayo n’enteekateeka ennungamu egoba obujama mu kibuga okugeza, okuteeka ebiveera ku maduuka ebigendamu buli kika kya kasasiro n’okuteeka ebipipa omuyiibwa kasasiro mu bifo ebyenjawulo mu kibuga kiyambe okukendeeza ku ndwadde eziva ku buligo.
Ono yeebazizza bannabulungibwansi olw’obunyiiikivu bwebateekamu mu kutuukiriza emirimu gy’embuga era naasaba abantu beemanyiize enkola eyokweyonja, era eky’obuyonjo bakitendeke abaana nabo bakyemanyiize.
Minisita wa Bulungibwansi, Amazzi n’Obutonde Bw’ensi, Owek Hajjat Mariam Mayanja Nkalubo yeebazizza Kamalabyonna olw’okubeera omusaale mukuwagira enteekateeka za Bulungibwansi era n’amwanjulira olukiiko olw’okuntikko ne bannakyewa okuli abasikawutu naabo abagenda okuteekateeka olusiisira lw’ ebyobulamu mu Lubiri e Mmengo ku Lwokuna nga 3.

Enteekateeka ya sabbiiti ya Bulungibwansi ne Gavumenti ez’Ebitundu nga bweri mu bujjuvu.
3rd October; Omusomo gw’okunnyikiza obukulembeze mu Baami b’emiruka n’abatongole mu Ggombolola Mutuba V Nyenga.
4th October; olusiisira lw’ebyobulamu olw’Abakadde.
▪︎ Okusaala Juma okusabira abakulembeze b’Obwakabaka ku mitendera gyonna dsaako okutuusa obubaka bwa Katikkiro ku nsonga ya Palamenti ya Bulaaya obutagula Mmwanyi ezirimibwa ku ttaka eryaliko ebibira.
4th-6th October; Olusiisira lwa bulungibwansi oluneetabwamu aba scout aba Nkobazambogo n’aba Akaliba akendo okuva mu masomero n’amatendekero ag’enjawulo.
5th October ; Okukola bulungibwansi owomuggundu ku nnyanja ya Kabaka n’okusimna emiti.
Ssande 6th; Okusabira abakulembeze mu masinzizo g’enzikiriza za Kristo.
▪︎Okuggalawo olusiisira lwa bulungibwansi mu Lubiri e Mmengo.
Mande 7th October; Okutongoza mailo ya Bulungibwansi mu Ggombolola y’e Nnyenga.
▪︎ Omusomo gw’Amateeka eri abakulira eby’amateeka mu Masaza.
Olwokubiri 8th October; Omukolo ogwo ku ntikko ya wiiki ya Bulungibwansi ne Gavumenti ez’Ebitundu.









