• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Kamalabyonna Mayiga akuutidde abakyala okukwasa abaana amakubo amatuufu

Gambuuze by Gambuuze
May 18, 2022
in Amawulire
0 0
1
Kamalabyonna Mayiga akuutidde abakyala okukwasa abaana amakubo amatuufu
0
SHARES
42
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Bulange – Mmengo

Katikkiro Charles Peter Mayiga akuutidde abakyala okukwasa abaana amakubo amatuufu wadde bingi bisobye mu ggwanga kiyambe okutaasa ebiseera by’eggwanga eby’omu maaso.

Okusaba kuno Katikkiro Mayiga akukoledde mu nsisinkano n’aba Mother’s Union okuva mu bulabirizi bw’e Namirembe nga bakulembeddwamu Pulezidenti wabwe  omuggya Nnaalongo Roseline Bingi Kawiso, e Bulange Mmengo ku Lwokusatu.

“Twagala okulaba nti amaka gongera okukwasa abaana amakubo amatuufu wadde waliwo ebikyama byetulaba mu Uganda naye tukyasobola okuba n’eggwanga ery’omu maaso eddamu. Nze mukulaba okwange bamaama bateeka okwewala enjogera egamba nti  Uganda bwetyo, ffe abasajja nebwetunagisigarako,” Owek. Mayiga bw’alambuludde.

Okusinziira ku Katikkiro Mayiga ebimu ku bigendererwa by’ekibiina bya byakutaba abakyala abafumbo awamu n’okubakumaakuma kuba kizuuliddwa nti abantu bonna ab’omugaso bava mu maka agatebenkedde obulungi.

Mayiga abakuutidde okugunjula obulungi abaana kuba obuvunaanyizibwa n’empisa mu baana okusinga babiggya ku ba maama ababalambika.

Abakyala bano abasabye okuzzaawo enkola y’abakyala okufumbirwa nga bakyali bato kikendeeze ku bakyala abalemwa okufumbirwa kuba ensangi zino  abavubuka abasinga tebakyalaba mukwano ng’empagi enkulu mu Buganda nga okusinga batunuulidde byanfuna.

Owek. Mayiga bano abawadde amagezi baddemu okusisinkanya abaana babwe basobole okwemanya kuba bulijjo omuntu atuuse okuwasa omwagalwa amuggya mu bantu bawangaala nabo okulwanyisa ekizibu ky’ ababeezi ababaferera ku mutimbagano.

Kamalabyonna Mayiga abasabye okwezimba kuba kizuuliddwa nti ebimu ebitabangudde amaka be bakyala abasusse obunafu nebalemwa okuyiiya.

Owek. Mayiga Pulezidenti omuggya Roseline Bingi Kawiso, amutegeezezza obubatya bisomoozo kuba obukulembeze kitegeeza kutuukiriza buvunaanyizibwa awamu n’okusala amagezi agavvuunuka ebikalubo era nakakasa nti webamuteeramu obwesige obusobozi buno abulina.

Minisita w’ebyobulamu, enkulaakulana y’Abantu n’ensonga za woofiisi ya Nnabagereka,  Oweek Dr. Prosperous Nankindu Kavuma asabye okunyweza okwagala yonna gyebali okusobola okumalawo ebizibu ebibalumba mu maka neeyo gyebawangaalira.

Pulezidenti w’ ekibiina ki ‘Mother’s Union’ e Namirembe, Roseline Bingi Kawiso,  asabye Obwakabaka bwa Buganda okubayambako kuba omukyala y’Enkuluze y’Obuwangwa olw’ensonga nti ye musomesa asookerwako nga yasobola okulambika abaana.

Abakyala bawagidde enteekateeka y’emisinde gya Kabaka egy’okubaawo nga 3/ July/ 2022 nga baguze emijoozi gya mitwalo 50.

Ensisinkano eno yeetabiddwamu Minisita Noah Kiyimba, Minisita Mariam Mayanja Nkalubo, Omukubiriza wa Ttabamiruka w’abakyala mu Buganda, Omuzaana Kimbugwe awamu n’abalala.

Share this:

Tags: Buganda KingdomKatikkiro Charles Peter MayigaMinisita Mariam Mayanja NkaluboMinisita Noah KiyimbaProsperous Nankindu KavumaRoseline Bingi Kawiso
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.