Bya Ssemakula John
Kisenyi – Kyaddondo
Omwami wa Kabaka amulamulirako essaza Kyaddondo, Kaggo Hajji Ahmed Magandaazi Matovu atuuzizza omwami ow’Omuluka gwa Kisenyi II ogusangibwa mu ggombolola ya Kampala Masekkati n’olukiiko lwe oluvannyuma lwa Beene okusiima bamuweereze.
Mu bubaka bwe , Kaggo abakuutidde okukulembeza eky’okukuuma ekitiibwa kya Buganda mu buli kyebakola. Ono era abakalaatidde okubeera eky’okulabirako ekirungi nga baweereza abantu ba Ssaabasajja baleme kuttattana kitiibwa kyabwe ng’abantu.
Mu ngeri yemu, abasabye okuweereza Beene nga bali bumu ate mu bwesimbu bwebaba baagala okugussa obuvunannyizibwa obubaweereddwa. Kaggo asinzidde wano naasaba abakulembeze mu Bwakabaka ku mitendera gyonna okugoberera amagezi gano Buganda edde ku ntikko.
Omukolo guno gwetabiddwako n’Omwami wa Kabaka atwala eggombolola ya Kampala Masekkati , Henry Kawuma Male ng’ono akubirizza abantu ba Kabaka okwenyigira mu buli nteekateeka z’Obwakabaka Buganda eyitimuke.
Ate Loodi Kkansala wa Kampala Central, Moses Kataabu asabye abazadde okunnyikiza ebyenjigiriza mu baana n’okwettanira enteekateeka z’ebyenkulaakulana eziteekebwawo Obwakabaka ne gavumenti eya wakati
Omwami w’Omuluka atuuziddwa, Michela Kiggundu , Omumyuka we Kasule Baker n’olukiiko oluggya bakubye ebirayiro nebawera okuweereza Kabaka n’obwesigwa era balambise ne byebagenda okutandikirako okulaba ng’Omuluka gugenda mu maaso.