Musasi waffe
Omwami akuuma entebe y’owessaza Kyaddondo, Kaggo, Agnes Nakibirige Ssempa, alambudde emirimu egy’enjawulo egikolebwa abakyala mu gombolola ya Makindye Mutuba III, n’ekigendererwa eky’okulaba entambuza y’amaka wamu n’obukulembeze nga bwebiyimiridde.
Mu ntanda gyeyabasibiridde, Kaggo yasabye abakyala bakome okwenyoma, baveeyo betandikirewo eky’okukola nga basinziira mu maka gaabwe kibayambe okugenda mu maaso.
Mu bitundu byalambudde mwabaddemu; Ggaba, Kansanga, Kibuli, Muyenga, Kabalagala, Lukuli, Luwafu.
Y’omuzaana Agnes Kimbugwe, ow’abakyala mu Ssaza lye Kyaddondo, yategeezezza nti kaweefube ono ajja kwongera okuzuukusa abakyala balekeraawo okwenyoma. Enteekateeka eno yawoomeddwamu omutwe Hajjat Mariam Nassali Kibuuka, atwala ekitongole ky’abakyala mu gombolola eno.