
Bya Pauline Nanyonjo
Bulange-Mmengo
Amalwaliro wamu n’ebitongole eby’ enjawulo biwaddeyo emmotoka za Ambyulensi eziwerako okuyambako okuwa obujjanjabi obwamangu eri abaddusi abaneetaba mu misinde gy’ Amazaalibwa ga Kabaka egy’ omwaka guno.
Emmotoka zino zanjuddwa olwaleero eri Minisita Israel Kazibwe Kitooke mu Bulange e Mmengo naakakasa nti buli kimu Kiri mu mbeera esinga obulungi.
Bano Minisita Kazibwe abasabye okusuubira abaddusi nga bangi era bakakase nti abantu bano bafuna empereza ennungi kuba abamu abanadduka tebalina kutendekebwa okumala mu kisaawe ky’okudduka nga bwekityo bateekeddwa okwetegeka ekimala.

Owek. Kitooke abasabye okuba abeerufu nga bakozesa eddagala eriwereddwayo amalwaliro gabwe ku baddusi baleme kulitereka era bakole n’ okwagala nga bajjanjaba abantu b’Omutanda.
Minisita Kazibwe abebaziza okwagala ennyo Obwakabaka nga bawaayo obuyambi mu ssiga lye byobulamu okuyamba okulaba nti emisinde gino giggwa bulungi .
Ye omumyuka wa Kaggo owookubiri, Oweek Dr. Phiona Kalinda agumiza abaddusi bonna abaneetaba mu misinde gino nti buli wantu wonna webanadukira wajja kubaawo owebyobulamu okukakasa obukuumi ku nsonga zobulamu bwabwe naye bano era abawadde amagezi okwetendeka mu wiiki eno esembayo obanguyirwe.
Dr Lutakome Jamada Aldin okuva mu ddwaliro lya Masters Medical Center e Kanyanya ategeezezza nti ekibaleese mu nteekateeka kwekuyambako Beene okulaba nti abantu be basigala balamu bulungi.

Agamu ku malwaliro agawaddeyo ambulance kuliko; Case hospital, St Catherine Hospital,Mengo Hospital, Rubaga Hospital, C-care, IHK, St Johns Ambulance services, Womens Specialist Mulago wamu n’ amalala.
Emisinde gya Kabaka gya kudukibwa nga 6/04/2025 nga okusimbula kwa mu Libiri e Mmengo