
Bya Gerald Mulindwa
Kyaddondo
Emizikiti egy’enjawulo okwetoloola Obuganda olwaleero gikulembeddemu enteekateeka y’okusabira Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ng’ebimu ku bikujjuko ebikulembera omukolo gw’okujjukira amazaalibwa ge ag’emyaka 70.
Mu kusaala okubadde ku muzikiti e Kibuli, obubaka bwa Katikkiro Charles Peter Mayiga busomeddwa Omumyuka Asooka owa Katikkiro era Minisita w’obuyiya, tekinologiya n’enzirukanya y’emirimu, Oweek Prof Twaha Kaawaase Kigongo era ono ayozaayozezza Nnyinimu olw’okutuuka ku kkula lino.
Yeebazizza Katonda olw’obulamu bw’awadde Ssaabasajja Kabaka n’ebyo by’amusobozesezza okutuukako.
Asabye abantu ba Buganda bulijjo okusabiranga Kabaka Katonda amuwangaaze, ayongere okulambika Obuganda mu bukulembeze Buganda eyongere okuyitimuka.
Abasabye okunywerera ku kiragiro kya Kabaka okwagalana n’okukuza abaana nga babaagazisa obuwangwa bwabwe.
Owek. Mayiga agamba kisaanidde okwongera amaanyi mu kwetangira endwadde ez’enjawulo ez’enjawulo naddala, Nnalubiri, mukenenya n’endwadde endala.
“Tulabye nga Ssaabasajja Kabaka wamu ne Gavumenti ye essira balitadde nnyo ku by’obulamu omuli; okutegeka e misinde mubunabyalo egikulembera omukolo gw’okujaguza amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka era nga e misinde gino gitegekeddwa ku miramwa egy’enjawulo n’okujjanjaba abantu ba Buganda”-Katikkiro bwategeezezza.
Agasseeko nti mu kaweefube w’okujjanjaba abantu ba Kabaka, Ssaabasajja Kabaka yatandika okuzimba amalwaliro mu masaza naye nga yatandikira Mukungwe mu Buddu; Nnyenga mu Kyaggwe; ne Busimbi mu Ssingo, era mu kaweefube ono e kizimbe ky’eddwaliro ly’e Busimbi kyatongozeddwa nga 8 Kafuumuulampawu.
Bw’atyo akubirizza abantu okutegeera n’okunywerera ku nsonga Ssemasonga ettaano kubanga ziwumbawumba Buganda byeyettanira nga kino kijja kuyamba nnyo Buganda ejja kudda ku ntikko mu mulembe guno.

Ku lulwe, Owek. Prof Twaha Kaawaase Kigongo, akulisizaayo abantu bonna abeetaba mu misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka Sande ewedde bw’atyo n’abasaba obuteerabira omulamwa ogw’okulwanyisa mukenenya.
Supreme Mufti, Sheikh Muhammad Galabuzi, awonze Ssaabasajja Kabaka mu mikono gy’omutonzi amuwangaaze ayongere okulamula Obuganda.
Omulangira Dr. Kassim Nakibinge, Omulangira Kalifan, Oweek Hajji Amisi Kakomo, Oweek Yunus Kamulegeya, Abalangira n’Abambejja, beetabye mu kusaala kuno.