
Bya Ronald Mukasa
Bulange – Mmengo
Minisita w’ Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone, Owek. Robert Sserwanga asisinkanye abakungu ba Kampuni y’Amawulire eya Vision Group abagenyiwaddeko embuga okwanja ettu lya bukadde 130 eri enteekateeka y’ Emisinde gy’ Amazaalibwa ga Kabaka aga 2024.
Owek. Sserwanga bano bamusanze mu Bulange e Mmengo ku Lwokuna era nabeebaza olw’obuwagizi bwabwe okutumbula embeera z’abantu ba Beene.
Minisita Sserwanga agambye nti okuva Omutanda lweyakulemberamu olutalo ku Mukenenya mu Afirika, omuwendo gw’abantu abakwatibwa akawuka kano guzze gukendeera bwatyo naasaba aba Vision Group okwongera okubunyisa enjiri eno.
Ono era akunze abantu ba Nnyinimu okujjumbira enteekateeka y’Emisinde gino nga bagula emijoozi wamu n’okudduka ku lunaku lwennyini okwongera amaanyi mu lutalo lw’okulwanyisa Mukenenya.
Akulembeddemu abakungu ba Vision Group, Michael Mukasa Ssebbowa annyonnyodde nti baakusigala nga bawagira enteekateeka zonna mu Bwakabaka kubanga bakimanyi nti Beene aba nensonga eyesimba buli lwabaako kyasoosowaza.
Ssebowa era ategeezeza nga bwebagenda okwetaba butereevu mu misinde gino ssaako nokutuusa emijoozi gy’emisinde eri bannansi mubitundu gyebawangalira.
Bwatyo akunze abaganda okuddayo ku nkola ey’emirimu gya Beene nga buli maka mulimu olusuku lwa Kabaka okusobola okwongera okutumbula embeera za bantu mu Buganda n’okugoba obwavu.
Ensisinkano eno yetabiddwamu Minisita w’ Amawulire n’ Okukunga Abantu, Owek. Israel kazibwe Kitooke n’abakungu abalala okuva mu Vision Group.