Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi yeetabye mukusaba okw’okujjuira nga bwegiweze emyaka ataano bukyanga kitaawe Ssekabaka Sir Edward Muteesa II akisa omukono.
kuno kwabadde ku Litikko e Namirembe nga kwetabiddwamu abantu ab’enjawulo okuli Maama Nabagereka Sylvia Nagginda, Katikkiro Charles Peter Mayiga, Omulangira Kassimu Nakibinge, abalangira n’abambejja ab’enjawulo saako abakungu okuva e Mmengo ne gavumenti yawakati.