
Bya Miiro Shafik
“Okuva lwe nafuuka omuweereza wa Ssaabataka nayongera okunonyereza n’okulondoola kalonda akwata ku Bwakabaka bwa Buganda era ebimu kw’ebyo bye namanya nange byempiseemu ne bye ndyabyeko ne mbiteeka mu bitabo” Katikkiro Mayiga.
Mu kujaguza emyaka 12, Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza ekitabo “Kabaka ku Nnamulondo” ng’akabonero ak’ekijjukizo ku kkula ery’emyaka 12. Ekitabo kino akivvuunudde okuva mu kye yasooka okuwandiika mu 2009, ekiyitibwa King on the throne. ‘The story of the restoration of the Kingdom of Buganda”

Katikkiro Mayiga agamba bweyafulumya ekitabo King on the Throne nga jya luzungu, abantu bangi baatandika baamusaba okukizza mu Luganda nga ne gw’asinga okunokolayo mu bbo, yali omu ku bakozi mu nnimiro ye eyawulira ku Leediyo okufuluma kw’ekitabo King on the Throne n’asanyuka nnyo, kyokka Katikkiro bwe yamutegeeza nti kino kiri mu lungereza, amaanyi ne gamuggwa, anti nga talumanyi. Owek. Mayiga agamba nti wano yamanya nti bangi abafaananako n’ono.
“KABAKA KU NNAMULONDO (Olugendo lw’okuzzaawo Obwakabaka)” kitabo ekirimu essuula 15 n’emiko kumpi 600. Kyafulumiziddwa aba Prime Time Communications.

Katikkiro agamba ekitabo kino kitutte obudde okukikyusa olw’ensonga nti okuggya ekiwandiiko mu lulimi olumu okukizza mu lulala, kitwala obudde okukyusa ebigambo ebiggyayo amakulu amtuufu. Ategeezezza nti kino kiwandiikiddwa okutuukagana n’ebibaddewo okuva lwe yafulumya ekyasooka mu 2009, munno ayongeddemu ebizze bikyuka okutuuka nga 2023.
“Kirungi ffenna tuwandiike byetuyiseemu ne bye tulabyeko, abalala baleme kutuwandiikira ate bbo bye baagala, bwe wewandiikira ebintu byo owandiika ky’omanyi obulungi, omulala bw’abeera takkiriziganya naawe naye awandiike olwo abantu bafune okumanya okw’enjawulo” Owek. Mayiga.
Ategeezezza nti mu Nsi ezikyakula, ebitabo tebiriimu nnyo ssente, kyokka kikulu biwandiikibwe kubanga kiyamba okukuuma ebyafaayo n’amagezi agagasa emirembe egiddako. Ono agamba nti kino kya muwendo nnyo okusinga ensimbi.

Ekitabo kino kyegasse ku bitabo ebirala, Charles Peter Mayiga by’azze awandiika okuli; Buganda ku Ntikko, 7 Key Transformation Ideas, Work and Prosper, Ettofaali ne King on the Throne.