Musasi waffe

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ayozaayozezza Abayisiraamu mu Uganda olw’okumalako omwezi gwa Ramadhan, og’okusiiba wakati mu kusoomoozebwa kw’ekirwadde kya coronavirus.
Mu bubakabwe obuwandiike, Kabaka ategeezezza nti ekisiibo ky’omwaka guno kibadde kizibu ddala naye n’asaba Abayisiraamu okugenda mu maaso nga bassa mu nkola ebiragiro bya gavumenti kukulwanyisa COVID-19.
Obubaka mu bujjuvu
Tukulisa nnyo bannaffe Abayisiraamu olw’okuyita mu mwezi omutukuvu ogwa Ramadhan era tubaagalaiza okusaala obulungi Eid el Fitri.
Tutuuse mu kiseera kino ng’ensonga enkulu eriwo munsi yonna ye y’obulwadde bwa COVID-19 obwalumba ensi mu myezi mitono egiyise kyokka nga kati busaasaanidde amawanga agasinga obungi era nga bukosezza n’ebyokusinza nga kati Abakkiriza basinziza mu maka gaabwe ekiraze nti mu buli mbeera tulina kutambulira ku biragiro bya Allah.
Wano mu Uganda tusaasira n’okusabira abantu baffe abazuuliddwamu obulwadde buno.
Tikkiriza nti obujjanjabi bwe bafuna okuva eri abasawo bujja kubayamba okussuuka.
Tusaasira nnyo enganda z’abantu baffe Bannayuganda abafudde obulwadde bwa COVID-19 mu nsi yonna.
Tusabira n’abo abakyali mu mbeera embi ennyo mu mawanga ago bassuuke.
Okusiiba y’emu kumpagi enkulu ez’obuyisiraamu, Abayisriraamu mwe beeweerayo ddala eri Omukama nga beerekereza ebimu ku bintu ebikulu mu bulamu era nga beebaza Katonda olw’obutonzi n’ebirungi by’awa abaddube wamu n’okumwegayirira okuwa ekisonyiwo eri ebyo ebitagenze bulungi mu maaso g’Omukama.
Mukiseera kino eky’okusoomoozebwa, twongere okunyweza ebiragiro by’abasawo ne’bya gavumenti nga bwetulambikiddwa okwekuuma Ssenyiga wa COVID-19.
Tukuume eddembe, okusonyiwagana n’okudduukirira abantu ba Katonda abali mu mbeera embi.
Tubaagaliza okuyita obulungi mu kujaguza Eid el fitri.
Allah abakuume.