• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Eby'obuwangwa

Kabaka asiimye okukwasizaako mu kumaliriza ekkanisa y’Oweek. Kaaya Kavuma

Gambuuze by Gambuuze
December 22, 2019
in Eby'obuwangwa
0 0
0
Kabaka asiimye okukwasizaako mu kumaliriza ekkanisa y’Oweek. Kaaya Kavuma
0
SHARES
72
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Paul Kaaya Kavuma Omusika w’omugenzi Oweek. Godfrey Kaaya Kavuma

Musasi waffe

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okukwasizaako mukumaliriza omulimu gw’okuzimba ekkanisa eyatandikibwa omugenzi Oweek. Godfrey Kaaya Kavuma eri e Buwaya Busiro. Mu bubakabwe bweyatisse Oweek. Twaha Kigongo Kawaase, omumyuka asooka owa Katikkiro mu kwabya olumbe lw’omugenzi Kaaya Kavuma, Ssaabasajja Kabaka asiimye nnyo emirimu egyakolebwa omugenzi eri ye ng’omuntu ne Buganda ng’ensi.“Ssaabasajja Kabaka akyali mukunyolwa olw’okuvibwaako musajjawe Godfrey Kaaya Kavuma eyali ow’omugaso era eyakola ebirungi ebingi ennyo eri Buganda. Era yasiima n’amuwa omudaali…olw’emirimu emirungi gyeyakola. Ng’eky’okujjukira ekirala eky’olubeerera, Ssaabasajja Kabaka yasiimye nti wankaaki w’ekkanisa, abe omusale okumuteekawo ng’ettoffaali ku kkanisa eno okujjukira musajjawe,” Kawaase bweyategeezezza. Ssaabasajja era yasabye Katonda akunyweza omusika Paul Kaaya Kavuma mu ntebe wamu n’okulamula banne obulungi. Ate ye Katikkiro Charles Peter Mayiga era mu bubaka obwetikiddwa Oweek. Kawaase, yatenderezza ab’enyumba ya Kaaya Kavuma olw’okutambuza obulungi emikolo okuviira dalala mukuziika okutuusa lwe bayabizza olumbe.

Oweek. Twaha Kigongo, Omusika Paul Kaaya Kavuma wamu ne Katikkiro eyawummula Mulwanyammuli Ssemwogerere

“Tubeebaza okukkiriza newayitawo akaseera nemutambuza olumbe lwe nga bwerwanditambudde okutuukira ddala mu woofiisi ya Katikkiro,” Obubaka bwa Mayiga bwebwategeezezza. Katikkiro era yasiiimye Jjajja Kyaddondo, akulira ekika kye Nvuma, Kaaya Kavuma mwava, olw’okulambika bazzukulube obulungi nti omusika w’omusajja aba musajja so si nga bwekiri mu bantu abamu abaagala okusikisa abaana abawala. Ku lulwe, Paul Kaaya Kavuma yatenderezza kitaawe, olw’omukwano omungi gweyalina eri ekkanisa, essomero lye erya Mwiri, Obwakabaka Bwa Buganda wamu ne Ssaabasajja Kabaka.

Jjajja Kyaddondo ng’asumika Paul Kkaaya Kavuma

“Yalina omukwano ogutenkanika eri ab’omunyumba ye, yayagala nnyo bazzukulube wamu ne mukyalawe. Maama bweyajjanga n’atukyalirako e Nairobi waba wakayita akaseera katono nga akuba essimu, okubuuza ali atya, mbu ekiwuubalo kimutta,” Paul Kaaya Kavuma bweyetegeezezza.  Yagasseeko nti kitaabwe yabasomesa okukola ennyo, okuwa abantu ekitiibwa wamu n’okuba n’obuntu bulamu. “Kubanga bwatyo naye bweyawangaala. Ebikolwabye n’ebigambobye tebyakonagananga.”Kulwe kkanisa, Omulabirizi  w’e Mityana eyawummula Wilson Mutebi yagambye tewali kukonagana wakati w’eby’obuwangwa n’enjigiriza y’e kikulisitaayo.

“Abamu bwebalaba olubugo, n’omuggo, n’akaleku n’akambe akaganda, n’ekibbo, bagamba tuli mu bukafiiri. Njagala okubategeeza nti nedda, sibukafiiri. Tuli Baganda…kubanga n’Abaganda badda nnyo. Tuli mu buwangwa n’ennono era tetunaba kusobyamu yadde,”Mutebi bweyagambye. Omukolo gwetabiddwako abantu eb’enjawulo okuli ne Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda, bakatikkiro abaawummula, Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere, John Baptist Walusimbi, wamu n’omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda Robert Waggwa Nsibirwa.

Share this:

  • Twitter
  • Tumblr
  • Pinterest
  • Pocket
  • WhatsApp
  • Skype
  • Telegram
  • LinkedIn
  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.