
Bya Shafik Miiro
Namirembe – Kyaddondo
Nnyinimu Ssaaabasajja Kabaka asiimye emirimu Amakula egikoleddwa eyaliko Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Nelson Kawalya eyafudde olunaku lw’eggulo.
Obubaka bwa Kabaka abutisse Katikkiro Charles Peter abusomedde Obuganda obukuŋŋaanidde mu Lutikko e Namirembe okusabira Omugenzi ku Lwokuna.
“Twebaza Katonda olw’obulamu bwe n’emirimu gyonna gy’amukozesezza. Tubasabira mwenna Mukama abayise mu kaseera kano akazibu” obumu ku bubaka bw’Omutanda Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II bwebusomye.
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ayogedde ku Owek. Nelson Kawalya ng’omuntu abadde kyakulabirako kirungi mu bukulembeze era ayagala ensi ye Buganda.
Omutanda asaasidde nnyo ab’enju, abooluganda n’emikwano wamu n’Omutaka Kalibbala n’Abekika ky’Enseenene olw’okufa kwa Owek. Kawalya okw’ekibwatukira nga yakava mu bijaguzo eby’emyaka 50 mu bufumbo.
Maasomoogi agamba nti omugenzi abadde wa nkizo nnyo eri Obwakabaka olw’emirimu gye yakola mu kitongole ky’ebyobulamu ate ne mu kiseera we yabeerera Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda nga ne waafiiridde yabadde omukuza w’Omukulu w’Ekika ky’Enseenene.

Beene ategeezeza nti Omugenzi Kawalya yakolera mu kiseera ekizibu ng’Obwakabaka tebulina bulungi nsimbi naye naakola eby’ettendo ate ne mu kukubiriza Olukiiko lwa Buganda yakuuma ekitiibwa ky’Olukiiko n’alambikanga bulungi n’Abateesa.
Ccuucu, Owek. Kawalya amutenderezza olw’okubeera omwesimbu, omukozi, omwetowaze era awa buli muntu ekitiibwa ate nga yeebuzibwako bingi ddala. Ayongeddeko nti omugenzi aweereza ng’omukulembeze mu bitongole bingi ebiyamba abantu nga Rotary, ate nga Mukulisitaayo omukukuutivu mu Kkanisa.