Bya Ssemakula John
Busiro
Ssaabasajja Kabaka wa Buganda awerezza obubaka obw’okusaasira n’okukubagiza abenju y’omugenzi Owek. Aineya Ntaate Kwatabalyawo olwokuviibwako omuntu owenkizo mu famire n’Obuganda.
Obubaka abutisse omumyuka asooka owa Katikkiro Owek. Haji. Prof. Kigongo Twaha Kaawaase, akiikiridde Obwakabaka ku mukolo gw’okuziika Owek. Ntaate ku kyalo Bwotansimbi e Buloba mu Busiro.
Omutanda atenderezza nnyo obwesimbu bw’omugenzi mu kiseera weyawerereza obuganda ng’omuwanika w’egganika lya Buganda wamu ne kitongole kya Nkuluze.
Kinajjukirwa nti Owek. Aineya Ntaate Kwatabalyawo yeyali omuwanika wa Buganda wakati wa 2005-2006, Owek. Ntaate yafa ku Lwakuna lwa wiiki ewedde.
Wasoosewo kusaba nakwebaza Katonda olw’obulamu obwemyaka 92 gyawadde Owek. Ntaate okukulembeddamu Can. Augustine Magala Musiwuufu avumiridde ennyo ebikolwa ebyobuli bwenguzi nasaba abantu okulabira ku Ntaate abadde omwerufu.
Abakungubazi ab’enjawulo omugenzi Ntaate bamutendereza ng’omuntu abadde ayanguyira era abaana be nabazzukulu babadde bamwenyumiririzaamu.
Omukolo guno gwetabiddwako eyali omuwandiisi wa Kabaka owekyama Owek. Amb. William Matovu, Ven, BK Buwembo n’abantu abalala.
Omugenzi Owek. Aineya Ntaate yaweerezaako mu kitongole kya Mawanga amagatte wansi wa United Nations Development and Planning e Dakar wakati wa 1970-1978 nga mu 1980 yafuuka omuteesiteesi omukulu mu minisitule y’ebyensimbi gyeyava nafuuka ssenkulu wa Uganda Co-orperative Bank ate mu 2005- 2006 nawereza Obuganda ng’ omuwanika ekintu kyabadde asinga okwenyumiririzaamu.