Musasi waffe
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, akubagizza ab’Ekika ky’Engeye olw’okufiirwa Omutaka Owakasolya, Kasujja.
Mu bubakabwe, Kabaka agambye nti kati omugenzi Muhamood Minge, abadde assa ekitiibwa mu Bwakabaka wamu n’obuwangwabwe.
Omutaka aterekeddwa olwaleero ku mbuga y’obutaka e Busujja mu Busiro.
Obubaka bwa Kabaka mubujjuvu
Tuwulidde n’okusaalirwa okungi amawulire ag’okufa okwekibwatukira okwo’Omutaka Kasujja, Hajji Muhamood Minge Kibirige abadde Omukulu w’Akasolya ow’Ekika ky’Engeye. Kitalo ddala.
Tusaasidde nnyo Ekika ky’Engeye kyonna olw’okuviibwako Omutaka Omukulu ow’Akasolya.
Twongera okusaasira ennyo abakyala, bamulekwa ab’Oluganda ab’emikwano olw’okufiirwa Taata era mukadde wammwe omwagalwa.
Omutaka abadde assa ekitiibwa mu Bwakabaka n’Ennono era akulembedde bulungi Ekika.
Alese atandise enteekateeka eziwerako ez’okunyweza obuwangwa, ennono, obumu n’ekulaakulana mu kika ky’Engeye.
Twebaza Mukama olw’obulamubwe n’emirimu gyamukozesezza.
Tusaba Mukama abagumye mu buyinike n’omugenzi amuwe ekiwummulo eky’emirembe.