
Bya Gerald Mulindwa
Mmengo – Kyaddondo
Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alagidde abantu be okunnyikiza obulimi n’ obulunzi era bakuume Obutonde bwensi kulw’ ebiseera bye ggwanga ebyo mu maaso ebitangaavu.
Ekiragiro kino, Omutanda akiyisizza mu bubaka bwatisse Nnaalinnya Lubuga Agness Nabaloga abuwe Abaami b’ Abamasaza n’ Abamyuka babwe awamu n’abalimisa abakung’aanidde e Mmengo ku kitebe ky’Ebyobulambuzi mu Buganda ku Lwokusatu.
Omusomo guno gutegekeddwa aba Kabaka Foundation ne Heifer International Uganda mu nteekateeka etuumiddwa Dream Hub Project okutumbula embeera z’abantu.
Nnyinimu agamba nti singa abantu bannyikira nebalima awamu n’okulunda abantu bajja kusobola okwekulaakulanya.
Beene era atenderezza ekitongole Kya Mott Foundation ne Heifer International Uganda olw’okuvujjirira enteekateka eno egenda okuganyula ennyo Obuganda.
Minisita w’Eby’obulimi, Obwegassi n’Obusuubuzi mu Bwakabaka, Owek. Amis Kakomo asabye abantu ba Beene okujjumbira enteekateeka eno nga bweguli ku mmwanyi bakyuse embeera zaabwe.
Ssenkulu wa Kabaka Foundation, Omuk. Edward Kaggwa Ndagala agambye buli ssaza lya kuzimbira ekifo eky’omutindo abalimi n’abalunzi webasobola okuyigira kibayambe okuyitimuka mu bulimi obwannamaddala.

Ssenkulu wa Heifer international Uganda, William Matovu ategeezezza nti basuubira okutuuka ku bavubuka abawerera ddala n’okubatandikira emirimu mu nteekateeka eno basobole okweggya mu bwavu.









