Bya Gerald Mulindwa
Mityana
Ssaabasajja Kabaka akungubagidde Rosalind Tanayita Kiwalabye nga ye mukyala wa Minisita David Kyewalabye.
Mu bubaka bwe obwetikkiddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, Kabaka agambye:
Owek. David Kyewalabye Male- Kikajjo, munnaffe, twawulidde amawulire ag’ennaku ag’okufa kwa mukyala wo omwagalwa Rosalind Tanayita Kyewalabye. Kitalo nnyo!
Tukusaasidde nnyo nnyini olw’okufiirwa mukwano gwo akubadde ku lusegere ng’akuyamba mu buli kimu. Mu ngeri y’emu tusaasira abaana olw’okuviibwako maama mu kiseera we babadde basinga okumwetaagira mu bulamu bwabwe.
Tujja kumujjukiranga bulijjo ng’abadde atambulira wamu naawe mu mirimu gyo gyonna n’obuweereza bwo eri Obwakabaka.
Tusaba Mukama akugumye mu buyinike n’omugenzi amuwe ekiwummulo eky’emirembe.