Musasi waffe
SSaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II atenderezza nnyo emirimu egikoleddwa musajja we, kati omugenzi, Pulofeesa Richard Bwogi Kanyerezi. Mu bubakabwe bwatisse Katikkiro Charles Peter Mayiga mukuziika Kanyerezi eggulo lyaleero e Maya mu Wakiso, Kabaka agambye nti Kanyerezi abadde kyakulabirako eri abantu abalala. “Tubeegattako okukungubagira omugenzi olw’ebyo byonna byakoze ebigasizza ennyo abantu baffe n’eggwanga. Tujjukira bulungi olwe’mirimu gye yakola ng’omu ku basawo abaasooka okukuguka mu ndwadde ezikwata emitima n’ensusu. Yatendeka abasawo abato bangi n’ebakuguka mu nzijanjaba y’ebirwadde ebyo ate alese ekijjukizo ky’eddwaliro,” Kabaka bwategeezezza.
Kabaka era asaasidde nnyo Oweek. Joyce Mpanga, ng’ono mwannyina wa Kanyerezi era nga yeyasikira kitaabwe Asanasio Masembe eyali ow’essiga Masembe mukika ky’enseenene. Omutanda era asaasidde nnyo Omutaka Kalibbala omukulu w’ekika ky’enseenene, bamulekwa naddala Timothy Masembe Kanyerezi olw’okufiirwa kitaabwe, gwayogeddeko nti abadde ayagala nnyo ekika kye.
“Abadde ayagala nnyo ensi ye era yeetaba butereevu okulwanyisa effugabbi mu Uganda. Yawaayo ensimbi ze n’ebiseera okuyamba abo bonna beyalowooza nti baagaliza Uganda enfuga ennungi. Obutafaananako n’abasomye ennyo abamu, yettanira nnyo obuwangwa n’ennono z’eggwangalye akoleredde nnyo ekikakye eky’ensenene era mu bukulu bwe nga Omutaka Masembe, yalwanirira era n’ataasa Obutaka bw’essiga e Maya obwali bunyagibwa. Abadde muwagizi wa Bwakabaka ne Namulondo mu bigambo ne mubikolwa tumusaaliddwa,’ Kabaka bwategeezezza.
Kululwe, Katikkiro Mayiga yeebazizza nnyo Pulofeesa Kanyerezi olwa kyayise okusiga mu baana be ensigo ey’okwagala eggwanga lyabwe. “Abaana abasizeemu okwagala abantu, ensigo ey’okukola ennyo n’obuyiiya. Ekitiibwa kyaffe kiri mu kukola okusinga ebigambo. N’olwekyo, obulamu bwa pulofeesa bubadde bujjuvu. Kituufu amaze emirimugye,” Mayiga bwagambye.
Katikkiro era asabye abantu okutandika okwegomba abantu abalina kyebakozeewo ate nga babali kumpi nga basobola okwogera nabo.
Omukolo ogw’okuwerekera omugenzi gwetabiddwako nnamungi w’omuntu okubadde abakungu okuva e Mengo wamu ne mu gavumenti eyawakati.
Mutabaniwe, Timothy Masembe Kanyerezi yamudidde mu bigere ng’owessiga lya Masembe. Ono yeebazizza nnyo abalina kyebakoze okulabirira kitaabwe okutuusa Mukama bweyamuyise.