Bya Gerald Mulindwa
Lubaga
Ssaabasajja Kabaka akungubagidde musajja we Francis Xavier Kitaka.
Mu bubaka buno bwasomeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga mu lutikko e Lubaga, Kabaka yabuwandiise nga 15/09/2020, n’agamba nti omugenzi abadde ayagala nnyo Obwakabaka n’ekika kye eky’Emmamba era n’asaasira ab’enju, abaana n’abazzukulu.
Ssaabasajja yagambye nti. “Omugenzi mu bulamu bwe abadde akulembeza Katonda, aweerezza ensi ye Uganda okumala ekiseera kiwanvu nga omukenkufu mu by’okutabula eddagala. Abadde Omusuubuzi omututumufu addukanyizza kkampuni eziwerera ddala mu bwesigwa ne mu bwerufu era nga awa buli muntu ekitiibwa.”
Omutanda yagasseeko nti, abadde kyakulabirako ky’amaanyi mu ngeri nnyingi ez’okwekulaakulanya era nga bangi bamuyingiddeko era ng’eggwanga lifiiriddwa nnyo.
Yasabye abafamire Mukama abagumye mu buyinike.
Ku lulwe, Katikkiro Mayiga yatenderezza obuvumu obwayoleseddwa ab’enju ya Kitaka bwe bategeezezza ng’omugenzi bw’afudde ekirwadde kya ssennyiga Corona.
Mayiga yagasseeko nti, omugenzi abalekedde abaana ab’omugaso, abakozi era abaagala Obuganda nga bulijjo babadde beenyigira mu nteekateeka z’Obwakabaka ez’enjawulo.