
Bya Gerald Mulindwa
Kasambya
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, akungubagidde maama wa Owek. Ahmed Lwasa aziikiddwa ku Lwokutaano. Obubaka obukungubaga Omutanda abutadde mu bubaka bwe bw’atisse Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga era yeebazizza olw’obulamu bwa Maama ono era n’asaba omutonzi okumugumya mu kiseera kino ekizibu.
Ate Ku lulwe, Katikkiro Mayiga agambye nti ku nkulaakulana eriwo e Mmengo, Owek. Ahmed Lwasa alinamu omukono munene era n’agumya abantu ku muyaga oguliwo kuba Buganda lwazi era nga ne Buganda ey’omulembe Omutebi teyeetaaga bantu batiitiizi.
Kamalabyonna asinzidde wano n’ategeeza nti okuva mu 2008 babadde batambula n’Owek. Lwasa okutambuza emirimu gya Ssaabasajja Kabaka n’atendereza abazadde olw’okumufuula eky’omugaso naddala mu by’enjigiriza.
“Mbeebalizaako Katonda eyabawa Maama ebbanga lya myaka 90, Katonda abaagadde, abantu batono nnyo abafuna omukisa okubeera ne bakadde baabwe ebbanga eggwanvu ate abafunye omukisa okubeera nabo ate baba tebalina busobozi kubalabirira.” Katikkiro Mayiga bw’agambye.
Omugenzi Hajjat Mariam Namutebi afiiridde ku myaka 90.
Omukolo gw’okuziika omugenzi gwetabiddwako baminisita, abakungu n’abantu ab’enjawulo okuva mu Bwakabaka n’ebitongole ebiwerako.









