Bya Gerald Mulindwa ne Francis Ndugwa
Buloba
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, akungubagidde eyali omuwandiisi ow’enkalakkalira mu woofiiisi ya Katikkiro, Amb. William Nagagga Kulwazi eyafudde gye buvuddeko oluvannyuma lw’okutawaanyizibwa obulwadde.

Mu bubaka bwa Ssaabasajja obusomeddwa Omulangira David Kintu Wasajja leero ku Lwokubiri mu kuziika e Buloba, Omuteregga asaasidde Nnamwandu Irene Nagagga, abaana n’abazzukulu olw’okufiirwako mukwano gwabwe.
“Amawulire g’okufa kwa munywanyi wo era mukwano gwaffe Ssabbiiti eyise gatukuba encukwe. Wewaawo twali tumanyi nti mulwadde wabula twalina essuubi nti olw’obujjanjabi obwamuweebwa yali ajja kudda ng’awonye.” Obubaka bwa Kabaka bwe busomye.
Kabaka yategeezezza nti omugenzi amumanyidde ekiseera kiwanvu mu mirimu egikwata ku kirime ky’emmwanyi wamu n’obuweereza bwe yaliko mu kibiina ky’amawanga amagatte.

Beene atenderezza omugenzi olw’okuba yateekawo embeera y’abakozi ennungi mu Bwakabaka bwa Buganda mu kiseera we yabeerera omuwandiisi w’enkalakkalira mu woofiisi ya Katikkiro.
Ate Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, asinzidde wano n’asaba gavumenti eveeyo etereeze eby’obulamu, kikendeeze ku bantu abagenda e Nairobi ne Buyindi kuba n’ebizibu ebibatwalayo tebibeera binene.
Owek. Mayiga atenderezza omugenzi olw’okutereeza enzirukanya y’emirimu mu Bwakabaka bwa Buganda era ng’essira lyateekebwa ku kulembeza abakozi naye akaseera ke kamu nga batondawo obuyiiya, okwagala awamu n’obukugu.
Nnamwandu Mary Namuddu Nagagga attottodde engeri gye baasisinkanamu ne William ku Ttendekero e Makerere era nga wano we batandikira omukwano gwabwe.
Ayogedde ku mugenzi ng’omuntu abadde ayagaliza abantu abalala okubaako kye bafuna mu bulamu era omuntu omwesimbu era atuukiriza obuvunaanyizibwa bwonna obwamuweereddwa era nga Buganda ne Uganda bafiiriddwa nnyo.
Omukolo guno gwetabiddwako; Namasole, bannaddiini, baminisita mu Bwakabaka, abakungu ba gavumenti eyaawakati awamu n’abantu abalala bangi.









