Musasi Waffe

Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asabye abasajja okufaayo eri obulamu bwabwe nga beekebeza siriimu wamu n’endwadde endala nga Hepatitis B, kansa, akafuba, ne puleesa. Mu bubakabwe ng’ensi ejjukira olunaku lwa mukenenya olubaawo nga Ntenvu 1 buli mwaka, omutanda agambye nga yye eyakwasibwa omumuli g’okulwanyisa siriimu ku Lukalu lwa Afirica, akoze ekimala okumanyisa abantu akabenje akali mu siriimu, saako omugaso gw’okwekebeza kubanga tayagala muntu yenna affe lwabutamanya. “Ndi musanyufu nti bangi kummwe, muwulidde omulanga gwange era nemwekebeza naddala mu bitundu eby’obujjanjabi bwa siriimu gyebuli. Naye tukyabeetaaga mu lutalo lw’okulwanyisa siriimu,” Kabaka bwategeezezza. Agasseeko nti mu bwa Kabaka bwe, mwemusinga abantu abalina akawuka akaleeta mukenenya saako n’abantu naddala abasajja n’abalenzi abafa mukenenya. Ategeeza nti kyetaagisa okwongeramu amanyi mu lutalo luno. Asabye abasajja okukola kyonna ekisoboka okulaba nga bakendeeza ensaasaana ya siriimu naddala eri abawala n’abakyala. “Gyebuvuddeko mwawulira Katikkiro ku Mande nga alangirira nti emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka egy’omulundi ogujja gigenda kwetoololera ku bulamu bwa basajja n’okukomya siriimu ku lw’obulungi bw’amaka gaabwe. Akaseera keekano nga abasajja okussa essira ku bulamu bwaffe kubanga yengeri yokka gyetunaasobolamu okulabirira abaana, abakyala, bannyinaffe, ne bannyaffe,”Kabaka bwategeezezza.
Obubaka bwa SSaabasajja Kabaka mu buwandiike. Obubaka bwa SSaabasajja Kabaka mu buwandiike.