
Bya Samuel Stuart Jjingo
Mukono – Kyaggwe
Ekitongole ki Kabaka Foundation kisse omukago ne kkampuni ya Yinsuwa eya Jubilee Life okutondawo ‘Tubeere Balamu Yinsuwa’. Bino bibadde mu Kyaggwe
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II akubirizza abantu be okujjumbira enkola ya yinsuwa ya “Tubeere Balamu” ebasobozesa okufuna obujjanjabi obusaanidde ekiseera kyonna.
Bino Nnyinimu abitadde mu bubaka obusomeddwa Omulangira Daudi Chwa mu kuggulawo olusiisira lw’ebyobulamu olutekegeddwa ekitongole kya Kabaka Foundation ku mbuga y’Essaza Kyaggwe e Ggulu.
“Kizuuliddwa nti ddala abantu baffe balwadde era ebyobulamu bisaana okwongera okuteekebwaako essira. Olw’ensonga eno, tutaddewo Tubeere Balamu yinsuwa okusobozesa abantu baffe okufuna obujjanjabi obusaanidde,” Kabaka Mutebi II.

Ye Minisita w’Ebyobulamu mu Buganda Owek. Choltilda Nakate Kikomeko akuutidde abantu ba Kabaka okufuba okulya n’okusula obulungi, okwewala ebirowoozo ebingi, okwegemesa, okukola dduyiro, okwekebeza buli luvanyuma lw’ebbanga eggere n’okunoonya awantu ewatuufu we balina okufunira obujjanjabi kibayambe okukuuma emibiri gyabwe nga gikola bulung.
Omwami w’Essaza Kyaggwe Ssekiboobo Vincent Matovu Bintubizibu yebazizza Nnyinimu okubeera omusaale mu kutumbula ebyobulamu n’okulaba ng’abantu be bafuna obujjanjabi ku bwerere ng’ayita mu nsiisira z’ebyobulamu ezitegekebwa mu masaza ge ag’enjawulo.
Omuk. Eddie Kaggwa Ndagala, Ssenkulu w’ekitongole ki Kabaka Foundation akuutidde abalonzi okutunuulira bannabyabufuzi mu kiseera kye bagendamu eky’okulonda basooke babalage enteekateeka zaabwe ze balina eri ebyobulamu kubanga kintu kikulu eri bannansi.
Omulabirizi Enos Kitto Kagodo awadde gavumenti eyavwakati amagezi okufuba okwongera amanyi mu byobulamu n’okuteeka ebikozesebwa mu malwaliro gaayo n’okuyambako ag’obwananyini kisoboze abantu okufuna obujjanjabi obwetagisa era obusaanidde ku ndwadde ez’enjawulo.
Olusisira luno lwakumala ennaku bbiri ate ng’abantu n’olunaku olusoose beeyiye mu bungi okufuna obujjanjabi ku bwerere.










