
Bya Gerald Mulindwa
Ssaabasajja Kabaka alagidde abantu ba Buganda okubeera omumuli gw’okutumbula n’okukulaakulanya Obwakabaka, bakomye okulowooleza mu balala okubayamba wabula beekolerere era benyigire butereevu mu mirimu nteekateeka ezigendereddwamu okusitula obulamu bwabwe.
Bino bibadde mu bubaka bwa Ssaabasajja obusomeddwa Omulangira Crispin Jjunju Kiweewa bw’abadde atongoza olukiiko oluggya olw’ettabi lya Kabaka Foundation e Bungereza ne Ireland ku mukolo ogubadde mu Royal National Hotel mu kibuga London.
Omutanda asiimye abantu ba Buganda abali emitala w’amayanja abakoze obutaweera okuvujjirira ekitongole kya Kabaka Foundation okusobola okutumbula embeera z’abantu be. Maasomoogi yasiima okuggulawo amatabi g’ekitongole kya Kabaka Foundation mu mawanga ag’enjawulo agali ku mulimu omunene ogw’okunoonya obuyambi n’obuvujjirizi okusobozesa emirimu gy’ekitongole okugguka.

Ssenkulu w’ekitongole ki Kabaka Foundation, Omuk. Edward Kaggwa Ndagala, agambye nti emirimu gy’ekitongole mingi egiwoomeddwamu omutwe amatabi gano ag’enjawulo Kabaka gazze atongoza okuli Kabaka Foundation Sweden, Midwest USA, California, Boston ne Canada.
Omubaka wa Ssaabasajja Kabaka mu Bungereza ne Ireland, Ssaalongo Geoffrey Kibuuka atenderezza nnyo Ssaabasajja Kabaka olw’emirimu egikoleddwa ekitongole ki Kabaka Foundation egiyamba okusitula embeera z’abantu.
Ssenkulu wa Kabaka Foundation ettabi lya Bungereza ne Ireland omuggya, Mutumba Henry ku lwa bboodi yeyamye okutuukiriza obuvunaanyizibwa obubaweereddwa Ssaabasajja.
