Musasi Waffe
Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II akaatirizza omugaso gw’okukuuma ebifo by’ennono wonna mu Buganda. Okwogera bino Kabaka abadde mu Lubiri e Mmengo ku mukolo Katikkiro Charles Peter Mayiga kwamwanjulidde Omutaka Ssemanobe omuggya, Paulo Kizito. “Omutaka Ssemanobe, akwata ekifo kya mwanjo mu bataka ba Buganda ab’ennono. Ekifo kikulu nnyo olw’emikolo gy’akola ku Kabaka nga atikkirwa n’okuba nga avunanyizibwa okukuuma ekifo ekikulu ekye Naggalabi. Ssemanobe omuggya, nammwe mwenna mulina okusoomoozebwa kwamaanyi okulaba ng’ekifo ekikulu bwekityo kikuumibwa butibiri. Naggalabi, kufaanana n’ebifo ebirala bingi mu Bwakabaka omuli emiruka n’amagombolola, afunze ate nga n’abantu beeyongedde obungi. Awonno, abaana n’abazzukulu mu lunyiriri lwa Ssemanobe, muluna okulaba nti embuga eyo mugikuumira ddala,” Kabaka bweyategeezezza.
Yangogeddeko nti ku mulembegwe, kisaanidde abaana b’omulunyiriri lwa Ssemanobe basome era bakuguke mumirimu egy’enjawulo kibasobozese okukulaakulana basobole okuzimba amaka mubitundu ebirala baleme bwonna kuggwera kuttaka lya bwa Ssemanobe.
“Kyandibadde kirungi eyo gyebujja mumaaso olunyiri luno okulowooza okuzimbawo ennyumba entongole eya Ssemanobe. Olw’obukulu bwa Naggalabi, twasalawo nti Ssemanobe akolagane n’ekitongole kyaffe ekya Kabaka Foundation era tusuubira nti mungeri eyo tujja kuba tusobola okukuuma ekifo era n’okulaba nga tukikulaakulanya,” Omutanda bweyategeezezza.
Ng’ayogerera ku mukolo gwegumu, Katikkiro Charles Peter Mayiga yategeezezza Kabaka nti buli mutendera gwonna mukutuuza Ssemanobe gwagobereddwa.
“Ndowooza bajjajjaffe baali banoonya bwenkanya, Katikkiro ategeeze omutanda nti ennono yonna yagobereddwa nti era omuntu omutuufu yoono. Ennono eno eya Ssemanobe, okuba nga yasumika omulangira agenda okulya Obuganda, yatandikira ku Jjajjawo Ssekabaka Namugala era okuva olwo, n’okutuuka leero, Ssemanobe akola omugaso mukulu nnyo okutuuza Kabaka wa Buganda ku Namulondo,” Mayiga bweyategeezezza.
Omutaka Paulo Kizito ye Ssemanobe owa 26 nga yaddira kitaawe, John Baptist Sserwanja eyafa nga 05/10 omwaka guno. Sserwanja yali azaalibwa Semu Kaggwa Ssemanobe owa 24 g’ono yeyaasumika Ssekabaka Sir Edward Muteesa II.
“Mukaweefube w’okuzza Buganda kuntikko, tulina okunyweza ennono zaffe ate n’obuwangwa obutufuula Abaganda,” Mayiga bweyagambye. Emirimu gya Ssemanobe emikulu giri ebiri; okusumika wamu n’okukuuma olusozi Naggalabi n’embuga zaako, ng’eno gyebatikkirira omulangira egenda okulya Obuganda.