Bya Musasi waffe
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II agguddewo omwaka omuggya 2020 mu Nkuuka ya CBS mu Lubiri e Mengo.
Omutanda mu Lubiri awerekeddwako Namasole Margaret Siwoza, omumbejja Katrina Ssangalyambogo.
Katikkiro Charles Peter Mayiga asinzidde mu Nkuuka naasaba abantu ba Beene okwekuuma mukenenya wamu n’okulondoola bannabyabufuzi abatambulira awamu n’ensonga za Buganda.
Ssenkulu wa CBS Micheal Kawooya Mwebe agambye nti Entanda ya Buganda ereeseewo enkulaakulana yamaanyi mu bitundu bya Buganda kubanga abazira mu bazira basobodde okuyimirizaawo amasomero gebawangula ate n’abandi nebatandikawo amalala ku ttaka Ssaabasajja Kabaka lyeyabawa.
Swaibu Mabaale yawangudde Entanda y’omwaka guno ate Nakasagga Patronera nawangula Entanda Diaspora. Bombi bano Beene abakwasizza ebyapa byabwe wamu ne kavu wa ssente.